|
| 1 |
|
| Naye, Yobu, kaakano, wulira bye ngenda okwogera. Wuliriza ebigambo byange byonna. |
|
| 2 |
|
| Ka ntandike okwogera, Kanfukumule byonna byenjagala okwogera. |
|
| 3 |
|
| Ebigambo byange bye biraga nti ndi mwesimbu, Njogera bya mazima omutali bukuusa. |
|
| 4 |
|
| Omwoyo wa Katonda ye yantonda, N'omukka gw'Omuyinza w'ebintu byonna gwe gumpa obulamu. |
|
| 5 |
|
| Oba oyinza, nziraamu. Tereeza bulungi ensonga zo, oyimirire mu maaso gange. |
|
| 6 |
|
| Gwe nange mu maaso ga Katonda tufaanagana, Ffembi twabumbibwa mu ttaka. |
|
| 7 |
|
| N'olwekyo tonenya nakatono, Sijja kukuzitoowerera. |
|
| 8 |
|
| Mazima oyogedde nze nga mpulira, Nange mpulidde ebigambo byo ng'ogamba nti: |
|
| 9 |
|
| “Ndi mulongoofu, sirina kyenasobya, Siriiko musango, temuli kibi mu nze. |
|
| 10 |
|
| Naye Katonda alina kyeyekwasa, Ampita mulabe we. |
|
| 11 |
|
| Ateeka ebigere byange mu nvuba, Alaba amakubo gange gonna.” |
|
| 12 |
|
| Naye ka nkutegeeze ggwe Yobu, nti mu kino oli mukyamu. Katonda asingira ddala omuntu obukulu. |
|
| 13 |
|
| Lwaki omwemulugunyiza ng'ogamba nti: “Nga tanziramu bye mugamba? |
|
| 14 |
|
| Katonda ayogera emirundi mingi, Naye nga tewali muntu assa mwoyo ku bigambo bye. |
|
| 15 |
|
| Mu kirooto, mu kwolesebwa okw'omu kiro, Otulo otungi bwe tukwata abantu, Nga babongootera ku bitanda. |
|
| 16 |
|
| Awo Katonda w'aggulira amatu g'abantu, N'abategeeza byayagala wamu n'okubalabula. |
|
| 17 |
|
| Abaggye mu bikolwa byabwe ebibi, Era abaziyize okuba abamalala. |
|
| 18 |
|
| Abawonya okukka emagombe, N'abaggya mu kufa. |
|
| 19 |
|
| Omuntu okulumwa kumukangavvulira ku kitanda kye, Obulumi ne bujjula mu magumba ge. |
|
| 20 |
|
| Obulamu bwe n'okutamwa ne butamwa eby'okulya, N'ebyamuwoomeranga ng'atakyabyegomba. |
|
| 21 |
|
| Omubiri guggwaawo n'akogga. N'amagumba ge agaali gatalabika ne gakukunala. |
|
| 22 |
|
| Ddala asemberera omugo gw'entaana, N'abo kumuzikiriza nga bamulindiridde. |
|
| 23 |
|
| Naye bw'afuna omu ku bamalayika ba Katonda, Enkumi n'enkumi, Abategeeza abantu ebibagwanira okukola. |
|
| 24 |
|
| N'amukwatirwa ekisa n'agamba Katonda nti, Muwonye aleme okukka emagombe. Mmulabiddeyo omutango. |
|
| 25 |
|
| Omubiri gwe gulidda buggya ng'ogw'omwana omuto, Era addamu maanyi agobuvubuka bwe. |
|
| 26 |
|
| Olwo omuntu oyo asaba Katonda, era amukwatirwa ekisa, N'ajja mu maaso ge nga musanyufu, Kubanga amuwonyeza okufa. |
|
| 27 |
|
| Ayimbira mu maaso g'abantu ng'agamba nti: Nnayonoona, ne nkola ebitasaana. Naye Katonda natambonereza. |
|
| 28 |
|
| Anunudde ne sikka magombe. Nja kwongera okuba omulamu. |
|
| 29 |
|
| Mazima ebyo byonna, Katonda abikolera abantu bulijjo. |
|
| 30 |
|
| Okubawonya amagombe, N'abawa essanyu olw'okuba abalamu. |
|
| 31 |
|
| Kaakano nno Yobu, wuliriza gye ŋŋamba. Sirika, ondeke njogere. |
|
| 32 |
|
| Naye oba nga olina eky'ogamba, Yogera, kubanga njagala okukakasa nti tolina musango. |
|
| 33 |
|
| Naye oba nga tokirina, sirika owulire bye ŋŋamba. Nkuyigirize eby'amagezi.” |
|
|
|
|