|
| 1 |
|
| Eliwu n'ayongera, n'agamba nti: |
|
| 2 |
|
| “Abagezi muwulirize ebigambo byange; mumpulirize mmwe abaayiga. |
|
| 3 |
|
| Kubanga okutu kwe kugeza ebigambo, ng'olulimi bwe luwulira obuwoomi bw'emmere. |
|
| 4 |
|
| Ffennyini tweramulire tulabe ekituufu, tunoonyereze wamu tuzuule ekirungi. |
|
| 5 |
|
| “Yobu agamba nti: ‘Ndi mutuufu, naye Katonda aggyeewo obutuufu bwange. |
|
| 6 |
|
| Newandibadde ndi mutuufu, bagamba nnimba; awatali musango akasaale kanfumise ekiwundu ekitawona.’ |
|
| 7 |
|
| Muntu ani ali nga Yobu, anywa okusekererwa ng'anywa amazzi; |
|
| 8 |
|
| asiba ekinywi n'aboonoonyi; n'ayita n'abantu abeeyisa obubi? |
|
| 9 |
|
| Anti yagamba nti: ‘Omuntu tekimugasa ne bw'agezaako okusanyusa Katonda.’ |
|
| 10 |
|
| “Kale nno mumpulirize mmwe ab'omutima ogutegeera: Kikafuuwe Katonda okweyisa obubi, Omuyinza wa buli kantu okubeera atali mwenkanya. |
|
| 11 |
|
| Aweera omuntu okusinziira ku ky'akoze; amuleka ne kimutuukirira nga bwe yeeyisa. |
|
| 12 |
|
| Mazima ddala Katonda takola bubi, Omuyinza wa buli kantu tatyoboola bwenkanya. |
|
| 13 |
|
| Ani yamukwasa ensi ye? Ani yassaawo ensi yonna? |
|
| 14 |
|
| Singa aba ayagadde mu mutima gwe, omwoyo gwe n'omukka abisika ne bidda gy'ali, |
|
| 15 |
|
| abantu bonna bandifudde lumu, omuntu yandizzeeyo mu nfuufu. |
|
| 16 |
|
| “Kale nno oba olimu akategeera, wulira kino; wuliriza bye ŋŋamba. |
|
| 17 |
|
| Kale atayagala butuufu asobola okufuga obwakabaka? Omutuukirivu era Omuyinza olimusingisa omusango? |
|
| 18 |
|
| Si ye yagamba bakabaka nti: ‘Temulina kye mugasa.’ N'abakungu nti ‘Muli babi’? |
|
| 19 |
|
| Ateekubiira wa mukungu; atattira ku liiso mugagga n'asaliriza omwavu, kubanga bonna mulimu gwa mikono gye. |
|
| 20 |
|
| Bafa mangu, ate mu ttumbi; abantu bakubwa encukwe, ne babulawo; ab'amaanyi baggyibwawo awatali na mukono guyambyeko. |
|
| 21 |
|
| Anti amaaso ge agasimbye ku makubo g'abantu; yekkaanya buli nta za bigere byabwe. |
|
| 22 |
|
| Mpaawo kizikiza yadde ekisiikirize ky'olumbe abeeyisa obubi gye basobola okwekweka. |
|
| 23 |
|
| Katonda teyeetaaga kuteerawo muntu kadde, ajje gy'ali alamulibwe. |
|
| 24 |
|
| Amerengula ab'obuyinza awatali na kubuuliriza, n'assaawo abalala mu kifo kyabwe. |
|
| 25 |
|
| Anti ye amanyidde ddala bye bakola, abayirimula wansi ekiro, n'ababetenta. |
|
| 26 |
|
| Abakuba olw'empisa zaabwe embi mu kifo abantu we babalabira. |
|
| 27 |
|
| Kubanga baamwawukanako; tebassa mwoyo ku makubo ge gonna. |
|
| 28 |
|
| Baleetera emiranga gy'omwavu okwambuka gy'ali, n'awulira emiranga gy'abanaku. |
|
| 29 |
|
| Singa asirika busirisi, anaamuvunaana? Bw'akweka amaaso ge, ani anaamulaba? So nga ye omu akuuma eggwanga n'abantu, |
|
| 30 |
|
| ababi baleme kufuga, baleme kutega bantu mitego. |
|
| 31 |
|
| “Singa omuntu agamba Katonda nti: ‘Nayonoona; sikyaddamu kukola bubi. |
|
| 32 |
|
| Kye siraba kinjigirize; oba nayonoona, ekyo sikyaddamu kukikola.’ |
|
| 33 |
|
| Alikuweera olw'okubeera ebigambo byo bw'ogaana okwenenya? Ggwe onoolondawo, si nze; ggwe yogera ky'omanyi. |
|
| 34 |
|
| Abantu abategeevu mumbuulire; abantu abagezi abampuliriza, mugambe nti: |
|
| 35 |
|
| ‘Yobu tayogezza butegeevu, n'ebigambo bye mubulamu amagezi.’ |
|
| 36 |
|
| Singa nno Yobu agezebwa okutuusa ku ntikko, olw'okwanukula ng'abantu ababi! |
|
| 37 |
|
| Kubanga ku bibi bye ayongerako obujeemu; engalo azikubamu mu makkati gaffe, n'ayongera obungi ebigambo bye ebivuma Katonda.” |
|
|
: |
| 1 | | 2 | | 3 | | 4 | | 5 | | 6 | | 7 | | 8 | | 9 | | 10 | | 11 | | 12 | | 13 | | 14 | | 15 | | 16 | | 17 | | 18 | | 19 | | 20 | | 21 | | 22 | | 23 | | 24 | | 25 | | 26 | | 27 | | 28 | | 29 | | 30 | | 31 | | 32 | | 33 | | 34 | | 35 | | 36 | | 37 | 1
1
1 |
|
|---|
|
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/job/034.mp3
42
34