|
| 1 |
|
| Awo Eriku ne yeeyongera okwogera nti, |
|
| 2 |
|
| “Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab’amagezi; mumpulirize mmwe abayivu. |
|
| 3 |
|
| Kubanga okutu kugezesa ebigambo ng’olulimi bwe lugezesa emmere. |
|
| 4 |
|
| Leka twesalirewo ekituufu; muleke tulondewo ekisaanidde. |
|
| 5 |
|
| “Yobu agamba nti, ‘Siriiko musango, naye Katonda agaanye okusala omusango gwange mu mazima. |
|
| 6 |
|
| Wadde nga ndi mutuufu, ntwalibwa okuba omulimba, wadde nga siriiko musango, akasaale ke kanteseeko ekiwundu ekitawonyezeka.’ |
|
| 7 |
|
| Musajja ki ali nga Yobu, anywa okunyoomebwa ng’anywa amazzi? |
|
| 8 |
|
| Atambula n’abakozi b’ebibi, mukwano gw’abo abakola ebitali bya butuukirivu. |
|
| 9 |
|
| Kubanga agambye nti, ‘Omuntu talina kyaganyulwa bw’agezaako okusanyusa Katonda.’ |
|
| 10 |
|
| Noolwekyo mumpulirize mmwe abasajja abalina okutegeera. Kikafuuwe Katonda okukola ebibi, wadde Ayinzabyonna okukola ebikyamu. |
|
| 11 |
|
| Asasula omuntu olw’ekyo ky’aba akoze; n’amutuusaako ebyo ebimusaanidde olw’empisa ze. |
|
| 12 |
|
| Weewaawo amazima gali nti, Katonda tasobya. Ayinzabyonna tasaliriza musango. |
|
| 13 |
|
| Obuyinza yabuggya eri ani okukulembera ensi? Ani eyamuwa olukusa okufuga ensi yonna? |
|
| 14 |
|
| Singa asalawo n’atwala omwoyo gw’omuntu awamu n’omukka gwe, |
|
| 15 |
|
| abantu bonna bandizikiriridde wamu, era omuntu yandizzeeyo mu nfuufu. |
|
| 16 |
|
| “Bw’oba olina okutegeera, wuliriza kino; wuliriza kye ŋŋamba. |
|
| 17 |
|
| Oyo atayagala bwenkanya asobola okufuga? Onoosalira abatuukirivu n’oyo ow’amaanyi omusango? |
|
| 18 |
|
| Oyo si ye agamba bakabaka nti, ‘Tolina mugaso,’ n’abakungu nti, ‘Oli mukozi wa bibi,’ |
|
| 19 |
|
| atattira balangira ku liiso era nga tafa ku bagagga kusinga bw’afa ku baavu, kubanga egyo gye mirimu gy’emikono gye? |
|
| 20 |
|
| Mu kaseera buseera baba bafiiridde wakati mu ttumbi. Abantu banyeenyezebwa ne baggyibwawo. Abo ab’amaanyi batwalibwa n’omukono ogutali gw’abantu. |
|
| 21 |
|
| “Amaaso ge gatunuulira amakubo g’abantu; atunuulira buli kigere kye batambula. |
|
| 22 |
|
| Teri kifo kikwafu wadde ekisiikirize eky’amaanyi, ababi gye bayinza okwekweka. |
|
| 23 |
|
| Katonda teyeetaaga kwongera kwekebejja bantu okulabika mu maaso ge okusalirwa omusango. |
|
| 24 |
|
| Awatali kwebuuza ku muntu yenna, amenyaamenya ab’amaanyi n’ateekawo abalala mu kifo kyabwe. |
|
| 25 |
|
| Olw’okubanga amanyi ebikolwa byabwe, abamalamu amaanyi ekiro ne babetentebwa. |
|
| 26 |
|
| Ababonereza olw’ebikolwa byabwe ebibi abantu bonna nga balaba, |
|
| 27 |
|
| kubanga baamuvaako ne balekeraawo okumugoberera ne bataddayo kufaayo n’akatono ku makubo ge gonna. |
|
| 28 |
|
| Baleetera abaavu okukaaba, ne kumutuukako era n’awulira okukaaba kw’abanyigirizibwa. |
|
| 29 |
|
| Naye bw’asalawo obutabaako ky’ayogera, ani ayinza okumunenya? Bwakweka amaaso ge ani ayinza okumulaba? Eggwanga n’omuntu abalinako obuyinza bwe bumu; |
|
| 30 |
|
| aziyiza omuntu atatya Katonda okufuga, aleme okutega abantu emitego. |
|
| 31 |
|
| “Singa omuntu agamba Katonda nti, gunsinze, sikyaddayo kwonoona, |
|
| 32 |
|
| kye sitegeera kinjigirize, bwe mba nga nsobezza sikyaddayo kukikola, |
|
| 33 |
|
| olwo Katonda akuddemu nga bw’oyagala, akuleke ng’ogaanye okwenenya? Kaakano ggwe olina okusalawo, so sinze; noolwekyo mbuulira ggwe ky’omanyi. |
|
| 34 |
|
| “Abantu abalina okutegeera mumbuulire, abasajja abagezi abawulira muntegeeze, |
|
| 35 |
|
| ‘Yobu ayogeza butamanya ebigambo bye tebiriimu kwolesebwa.’ |
|
| 36 |
|
| Singa Yobu agezesebbwa okutuusa ku nkomerero, olw’okwogera ng’abasajja abakozi b’ebibi! |
|
| 37 |
|
| Kubanga ku kibi kye ayongeddeko obujeemu, n’akuba mu ngalo wakati mu ffe, n’ayongera okwogera ng’awakanya Katonda.” |
|
|
|
|