Luganda Bible
|
| 1 |
| Era nate Eriku n'addamu n'ayogera nti |
| 2 |
| Olowooza ekigambo ekyo ye nsonga yo, Oba oyogera nti Obutuukirivu bwange businga obwa Katonda? |
| 3 |
| N'okwogera n'oyogera nti Kirikugasa ki? Era nti Ndifuna magoba ki ge ndiba nago okukira ge nnandifunye singa nayonoona? |
| 4 |
| Nze nnaakuddamu, Ne banno wamu naawe. |
| 5 |
| Tunuulira eggulu olabe; Era ttunuulira eggulu erikusinga obugulumivu. |
| 6 |
| Oba nga oyonoonye omukola ki? Okusobya kwo bwe kweyongerayongera, omukola ki? |
| 7 |
| Bw'oba n'obutuukirivu, omuwa ki? Oba aweebwa ki mu mukono gwo? |
| 8 |
| Obubi bwo buyinza okulumya omuntu nga ggwe bw'oli; N'obutuukirivu bwo buyinza okugasa omwana w'omuntu. |
| 9 |
| Olw'okujoogebwa okungi ennyo bakaaba; Bakuba enduulu bayambibwe olw'omukono ogw'ab'amaanyi. |
| 10 |
| Naye tewali ayogera nti Katonda Omutonzi wange ali ludda wa, Awa ennyimba ekiro; |
| 11 |
| Atuyigiriza okusinga ensolo ez'oku nsi, Era atuwa amagezi okukira ennyonyi ez'omu bbanga? |
| 12 |
| Bakaabira eyo, naye tewali addamu, Olw'amalala ag'abantu ababi. |
| 13 |
| Mazima Katonda taawulire bigambo ebitaliimu, So n'Omuyinza w'ebintu byonna tasseeyo mwoyo. |
| 14 |
| Kale aliwulira atya bw'oyogera nti tomulaba, Ensonga eri mu maaso ge, naawe omulindirira? |
| 15 |
| Naye kaakano kubanga tabonerezza na busungu bwe, So tassaayo nnyo omwoyo eri esukuti; |
| 16 |
| Yobu kyava ayasama akamwa ke okwogera ebigambo ebitaliimu; Ayongerayongera ebigambo awatali kumanya. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/job/035.mp3
42
35