BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Eliwu n'ayongera, n'agamba nti: |
| 2 |
| “Ggwe olaba ng'endowooza yo ntuufu, ggwe okugamba nti: ‘Mu maaso ga Katonda ndi mutuufu’? |
| 3 |
| Era ogamba nti: ‘Nfunamu ki? Ngasirwamu ki bwe soonoona?’ |
| 4 |
| “Kale nze nzija kukuddamu, nnyanukulireko ne banno abali naawe. |
| 5 |
| Lalama eri eggulu olabe, tunuulira ebire ebitumbidde waggulu wo. |
| 6 |
| Bw'okola ekibi, kimukolako ki? Emisango gyo ne bweginaayongerwa obungi, omukosa wa? |
| 7 |
| Ye bwe weeyisa ng'omutuukirivu, kiki ky'oba omuwadde? Kiki ky'afuna mu mukono gwo? |
| 8 |
| Empisa zo embi zikosa muntu afaanana nga ggwe, n'obutuukirivu bwo buyamba bantu buntu. |
| 9 |
| “Bawanjaga olw'obungi bw'okunyigirizibwa; basaba obuyambi bateewuluzibwe mu mikono gy'ab'amaanyi. |
| 10 |
| Naye mpaawo agamba nti: ‘Katonda Eyankola ali ludda wa, awa ennyimba mu kiro, |
| 11 |
| atuyigiriza okusinga bw'akola ku bisolo by'omu nsi, n'atufuula bagezi okusinga ebinyonyi by'omu bbanga?’ |
| 12 |
| Baleekaana eyo, naye tabaddamu olw'okwekuza kw'ababi. |
| 13 |
| Ddala bya busa, Katonda tabawulira; Omuyinza wa buli kantu tatunula nayo. |
| 14 |
| Oli na bubi okusinga, bw'ogamba nti tomulaba, omusango gwo guli mu maaso ge, olina kumulindirira; |
| 15 |
| na kati nti: ‘Obusungu bwe tebubonereza, era tafaayo n'akatono ku mwonoonyi.’ |
| 16 |
| Awo nno Yobu ayasamiza bwereere akamwa ke; ayongera bungi ebigambo omutali magezi.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/job/035.mp3
42
35