Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Eriku n’ayongera okwogera nti, |
| 2 |
| “Olowooza kiba kituufu ggwe okugamba nti, Katonda ananziggyako omusango. Oyogera nti, obutuukirivu bwange businga obwa Katonda. |
| 3 |
| Ate obuuza nti, ‘Nganyulwa ntya?’ Kirungi ki kye nfuna mu kwonoona kwange? |
| 4 |
| “Nandyagadde okukuddamu ne mikwano gyo egyo gy’oli nagyo. |
| 5 |
| Tunula eri eggulu olabe; tunuulira ebire, ebiri waggulu ennyo okukusinga. |
| 6 |
| Singa oyonoona ekyo kimukwatako kitya? Ebyonoono byo bwe byeyongera, ekyo kimukolako ki? |
| 7 |
| Bw’oba omutuukirivu, kiki ky’oba omuwadde, oba kiki ky’aba afunye okuva mu ngalo zo? |
| 8 |
| Okwonoona kwo kukosa muntu nga ggwe, era n’obutuukirivu bwo bukwata ku baana b’abantu. |
| 9 |
| Abantu bakaaba olw’okunyigirizibwa okw’amaanyi, balaajaanira ab’omukono ogw’amaanyi. |
| 10 |
| Naye tewali n’omu agamba nti, Aluwa Mukama Omutonzi wange atuwa ennyimba ekiro, |
| 11 |
| atuyigiriza ebingi okusinga ensolo ez’omu nsiko, era n’atufuula bagezi okusinga ebinyonyi eby’omu nsiko? |
| 12 |
| Newaakubadde nga bakaaba, tayinza kuwulira n’addamu kukaaba kw’abasajja ab’amalala abakozi b’ebibi. |
| 13 |
| Ddala ddala Katonda tawuliriza kukoowoola kwabwe okwo okutaliimu; Ayinzabyonna takufaako. |
| 14 |
| Kale kiba kitya bw’ogamba nti tomulaba, era nti, Omusango gwo guli mu maaso ge era oteekwa okumulindirira; |
| 15 |
| oba nti, ne bw’asunguwala tabonereza era tafaayo nnyo ku butali butuukirivu. |
| 16 |
| Kale nno Yobu ayasamya akamwa ke okwogera ebitaliimu; obutamanya bumwogeza ebigambo olukunkumuli.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/job/035.mp3
42
35