|
| 1 |
|
| Era nate Eriku ne yeeyongera n'ayogera nti |
|
| 2 |
|
| Sooka ondeke, nange naakunnyonnyola; Kubanga nkyaliko kye njagala okwogera ku lwa Katonda. |
|
| 3 |
|
| Naggya wala okumanya kwange, Era naamussaako obutuukirivu Omutonzi wange. |
|
| 4 |
|
| Kubanga mazima ebigambo byange si bya bulimba: Omuntu eyatuukirira mu kumanya ali naawe. |
|
| 5 |
|
| Laba, Katonda wa maanyi, so tanyooma mnntu yenna: Wa maanyi mu buyinza obw'okutegeera. |
|
| 6 |
|
| Takuuma bulamu bw'ababi: Naye abawa ababonyaabonyezebwa ebyabwe. |
|
| 7 |
|
| Taggya maaso ge ku batuukirivu Naye awali bakabaka ku ntebe Gy'abateeka emirembe gyonna ne bagulumizibwa. |
|
| 8 |
|
| Era bwe baba nga basibiddwa n'amasamba, Era nga bakwasibwa n'emigwa egy'okubonyabonyezebwa; |
|
| 9 |
|
| Kale n'abalaga omulimu gwabwe, N'okusobya kwabwe nga bagize eby'amalala. |
|
| 10 |
|
| Era aggulawo okutu kwabwe okuwulira okuyigirizibwa, N'abalagira bakomewo okuva mu butali butuukirivu. |
|
| 11 |
|
| Bwe bawulira ne bamuweereza, Banaamalanga ennaku zaabwe nga balabye omukisa, N'emyaka gyabwe nga basanyuka. |
|
| 12 |
|
| Naye bwe batawulira banaazikiriranga n'ekitala, Era banaafanga awatali kumanya. |
|
| 13 |
|
| Naye abo abatamanyi Katonda mu mutima batereka obusungu: Tebakuba nduulu bayambwe bw'abasiba. |
|
| 14 |
|
| Bafa nga bakyali bato, N'obulamu bwabwe buzikirira mu abo abatali balongoofu. |
|
| 15 |
|
| Awonya oyo abonyabonyezebwa olw'okubonyabonyezebwa kwe, Era aggula okutu kwabwe bwe bajoogebwa. |
|
| 16 |
|
| Weewaawo, yandikuggye mu kulaba ennaku N'akuyingiza mu kifo ekigazi awatali kunyigirizibwa; N'ekyo ekiteekebwa ku mmeeza yo kyandijjudde obugimu. |
|
| 17 |
|
| Naye ggwe ojjudde omusango gw'omubi: Omusango n'okusala eby'ensonga bikukwata. |
|
| 18 |
|
| Kubanga waliwo obusungu, weekuume oleme okutwalibwa n'obugagga So enguzi tekukyamyanga kubanga nnene. |
|
| 19 |
|
| Obugagga bwo bunaamala oleme okulaba ennaku, Oba obuyinza bwonna obw'amaanyi go? |
|
| 20 |
|
| Teweegomba kiro, Amawanga bwe gazikirizibwa mu kifo kyago. |
|
| 21 |
|
| Weekuume oleme okutunuulira obutali butuukirivu: Kubanga weerobozezza obwo okusinga okubonyabonyezebwa. |
|
| 22 |
|
| Laba, Katonda akola ebigulumivu mu buyinza bwe: Ani omuyigiriza afaanana ye? |
|
| 23 |
|
| Ani eyali amulagidde ekkubo lye? Oba ani ayinza okwogera nti Okoze ebitali bya butuukirivu? |
|
| 24 |
|
| Jjukira okugulumizanga omulimu gwe, Abantu gwe baayimbangako. |
|
| 25 |
|
| Abantu bonna baagutunuulira; Abantu baagulengera nga bayima wala. |
|
| 26 |
|
| Laba, Katonda mukulu, naffe tetumumanyi; Omuwendo gw'emyaka gye tegunoonyezeka. |
|
| 27 |
|
| Kubanga awalula waggulu amatondo g'amazzi, Agatonnya enkuba eva mu mukka gwe: |
|
| 28 |
|
| Eggulu ge liyiwa Ne ligatonnya ku bantu mangi nnyo. |
|
| 29 |
|
| Weewaawo, waliwo ayinza okutegeera ebire bwe bibambibwa, Okubwatuuka okw'omu weema ye? |
|
| 30 |
|
| Laba, yeeyaliirira omusana gwe okwetooloola; Era asaanikira ku nnyanja wansi. |
|
| 31 |
|
| Kubanga olw'ebyo asala emisango gy'amawanga; Agaba emmere nnyingi nnyo. |
|
| 32 |
|
| Abikka engalo ze n'enjota; Era aziragira zikube sabbaawa. |
|
| 33 |
|
| Eddoboozi lyazo linnyonnyola ebigambo bye, Era libuulira n'ente kibuyaga ayambuka. |
|
|
|
|