Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Eriku ne yeeyongera okwogera nti, |
| 2 |
| “Yongera okuŋŋumiikirizaako katono nkulage, nkyalina bye nnina okwogera ebifa ku Katonda. |
| 3 |
| Amagezi ge nnina gava wala, era mmanyi nga Omutonzi wange alamula mu bwenkanya. |
| 4 |
| Eky’amazima ebigambo byange si bikyamu, oyo akakasa by’amanyi y’ayogera naawe. |
| 5 |
| “Laba, Katonda wa buyinza, tanyooma bantu; w’amaanyi, anywerera ku bigendererwa bye. |
| 6 |
| Talamya bakozi ba bibi, era awa ababonyaabonyezebwa ebibasaanira. |
| 7 |
| Taggya maaso ge ku batuukirivu, abatuuza ku ntebe ey’obwakabaka n’abagulumiza emirembe n’emirembe. |
| 8 |
| Naye abantu bwe baba basibiddwa enjegere nga banywezeddwa n’emiguwa egy’okulumwa |
| 9 |
| n’abategeeza ensobi zaabwe, n’okwonoona kwabwe, nti, beewaggudde, |
| 10 |
| aggula amatu gaabwe bawulirize okunenyezebwa n’abalagira beenenye ekibi kyabwe. |
| 11 |
| Bwe bamugondera ne bamuweereza, ennaku zaabwe zonna balizimala mu kwesiima, era n’emyaka gyabwe mu kusanyuka. |
| 12 |
| Naye bwe batamugondera, baalizikirizibwa n’ekitala, bafe nga tebalina magezi. |
| 13 |
| “Ab’emitima egitatya Katonda baba n’obukyayi. Ne bw’abasiba, tebamukaabirira abasumulule. |
| 14 |
| Bafiira mu buvubuka bwabwe era obulamu bwabwe buzikiririra mu basajja abenzi. |
| 15 |
| Anunula anyigirizibwa mu kubonaabona kwe, n’aggula okutu kwe mu kujoogebwa kwe. |
| 16 |
| “Akusendasenda okukuggya mu kamwa k’okubonaabona, akuteeke mu kifo ekigazi ekitaliimu kuziyizibwa, omanye emirembe gy’emeeza yo ejjudde emmere ennungi. |
| 17 |
| Naye kaakano weetisse omugugu ogw’okusalirwa omusango abakozi b’ebibi gwe basaanira; okusalirwa omusango n’obwenkanya byakunyweza. |
| 18 |
| Weegendereze oleme kukkiriza kusendebwasendebwa; obunene bw’enguzi buleme okukukyamya. |
| 19 |
| Obugagga bwo oba okufuba kwo kwonna binaakuyamba okukuggya mu buyinike? |
| 20 |
| Teweegomba budde bwa kiro olyoke owalule abantu okuva mu bifo byabwe. |
| 21 |
| Weegendereze oleme kukola bitali bya butuukirivu, by’osinga okwagala okukira okubonyaabonyezebwa. |
| 22 |
| “Laba Katonda yagulumira mu maanyi ge; ani ayigiriza nga ye? |
| 23 |
| Ani eyali amukubidde amakubo, oba okumugamba nti, ‘Ky’okoze si kituufu?’ |
| 24 |
| Jjukira ng’oteekwa okugulumizanga emirimu gye, abantu gye bayimba mu nnyimba. |
| 25 |
| Abantu bonna baagiraba, omuntu agirengerera wala. |
| 26 |
| Laba, Katonda agulumizibwe! Assukiridde okutegeera kwaffe; obungi bw’emyaka gye tebunoonyezeka. |
| 27 |
| “Kubanga akuŋŋaanya amatondo g’amazzi, agafuuka enkuba etonnya mu bugga; |
| 28 |
| ebire bivaamu amazzi gaabyo, enkuba n’ekuba abantu. |
| 29 |
| Ani ayinza okutegeera engeri gy’asaasaanyamu ebire, okubwatuka okuva ku kituuti kye? |
| 30 |
| Laba, asaasaanya okumyansa kw’eggulu, era n’abikka obuziba bw’ennyanja. |
| 31 |
| Eyo y’engeri gy’afugamu amawanga, n’agawa emmere mu bungi. |
| 32 |
| Emikono gye agijjuza eraddu, n’agiragira ekube ebifo bye yeerondeddemu. |
| 33 |
| Okubwatuka kwayo kulangirira kibuyaga ajja, n’ente ne zirangirira okujja kwayo.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/job/036.mp3
42
36