|
| 1 |
|
| Era n'ekyo kikankanya omutima gwange, Ne gunyeenyezebwa okuva mu kifo kyagwo. |
|
| 2 |
|
| Muwulire okuwuuma kw'eddoboozi lye, N'okududuma okuva mu kamwa ke. |
|
| 3 |
|
| Akusindika wansi w'eggulu lyonna, N'okumyansa kwe kubuna enkomerero z'ensi. |
|
| 4 |
|
| Oluvannyuma lwakwo eddoboozi ne liwuluguma; Abwaluka n'eddoboozi ery'obukulu bwe: So tabiziyiza eddoboozi lye bwe liwulirwa. |
|
| 5 |
|
| Katonda abwatuka kitalo n'eddoboozi lye; Akola ebikulu bye tutayinza kutegeera. |
|
| 6 |
|
| Kubanga agamba omuzira nti Gwa ku nsi; Era bw'atyo bw'agamba oluwandaggirize, N'empandaggirize ez'enkuba ye ey'amaanyi. |
|
| 7 |
|
| Assa akabonero ku mukono gwa buli muntu; Abantu bonna be yatonda balyoke bakimanye. |
|
| 8 |
|
| Awo ensolo ne zigenda mu bwekwekero, Ne zibeera mu mpuku zaazo, |
|
| 9 |
|
| Mu kisenge eky'obukiika obwa ddyo mwe muva omuyaga: Empewo ne ziva mu bukiika obwa kkono. |
|
| 10 |
|
| Omukka gwa Katonda gwe guleeta omuzira: N'amazzi bwe genkana obugazi ne gakwata. |
|
| 11 |
|
| Weewaawo, ajjuza ekire ekiziyivu amazzi; Abamba ekire eky'enjota ze: |
|
| 12 |
|
| Era okuluŋŋamya kwe kwe kukikyusakyusa eruuyi n'eruuyi, Bikolenga byonna by'abiragira Kungulu ku nsi yonna okubeereka: |
|
| 13 |
|
| Oba nga kya kubuulirira, oba nga kya nsi ye, Oba nga kya kusaasira, kyava akireeta. |
|
| 14 |
|
| Ekyo kiwulire, ggwe Yobu: Yimirira buyimirizi, olowooze ebikolwa bya Katonda eby'ekitalo. |
|
| 15 |
|
| Omanyi Katonda bw'abikuutira, N'ayasa enjota ez'omu kire kye? |
|
| 16 |
|
| Omanyi okutereezebwa kw'ebire, Ebikolwa eby'ekitalo eby'oyo eyatuukirira mu kumanya? |
|
| 17 |
|
| Ebyambalo byo bwe bibuguma, Ensi ng'esirise olw'embuyaga ez'obukiika obwa ddyo? |
|
| 18 |
|
| Oyinza okubambira eggulu awamu naye, Amaanyi gaalyo genkana endabirwamu ensaanuuse? |
|
| 19 |
|
| Tuyigirize bye tuba tumugamba; Kubanga tetuyinza kuliraanya kwogera kwaffe olw'ekizikiza. |
|
| 20 |
|
| Anaabuulirwa nga njagala okwogera? Oba omuntu yandyagadde okumirwa? |
|
| 21 |
|
| Era kaakano abantu tebalaba musana ogumasamasa mu ggulu: Naye embuyaga ne ziyita ne ziryerula. |
|
| 22 |
|
| Mu bukiika obwa kkono mwe muva okuyakaayakana okuli nga zaabu: Katonda ayambadde ekitiibwa ekikanga. |
|
| 23 |
|
| Omuyinza w'ebintu byonna tetuyinza kumunoonya; asinga bonna obuyinza: Era mu musango ne mu butuukirivu obusukkirivu talibonyabonya. |
|
| 24 |
|
| Abantu kyebava bamutya: abassaako omwoyo abo bonna abalina emitima egy'amagezi. |
|
|
|
|