BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| “Ekyo kyakanga omutima gwange ne gubuuka mu kifo kyagwo. |
| 2 |
| Wulira, wulira okubwatuka kw'eddoboozi lye, kuwuluguma okuva mu kamwa ke. |
| 3 |
| Ata ekimyanso kye wansi w'eggulu lyonna, ekitangaala kye n'akisindika okutuuka ku nsonda z'ensi. |
| 4 |
| Okuwuluguma kwe ne kugoberera; n'abwatuka n'eddoboozi ly'ekitiibwa kye. Ng'eddoboozi lye limaze okuwulirwa, teri kimuziyiza. |
| 5 |
| Katonda abwatuka n'eddoboozi lye mu ngeri eyeewuunyisa; akola ebinene bye tutategeera. |
| 6 |
| Alagira omuzira nti: ‘Gwa ku nsi,’ n'enkuba nti: ‘Tonnya okanye.’ |
| 7 |
| Assa akabonero mu mukono gwa buli muntu, abantu bonna bamanye by'akola. |
| 8 |
| Ebisolo byekukuma, ne byewogoma mu nfo zaabyo. |
| 9 |
| Omuyaga ne gufubutuka gye gusula, obunnyogovu ne buva mu mpewo y'emambuka. |
| 10 |
| Omukka gwa Katonda gukwasa omuzira, amazzi ageetadde ne gafuuka ekitole. |
| 11 |
| Ebire abijjuza amazzi, ekimyanso kye ne kisasaanya ebire. |
| 12 |
| Bigenda ne bidda nga bw'ateesa; byetooloola wonna ku nkulungo y'ensi, nga bikola nga bw'alagira. |
| 13 |
| Ayinza okubireeta olw'ekibonerezo, oba olw'ensi ye, oba olw'ekisa kye. |
| 14 |
| “Yobu, wuliriza kino; yimirira wekkaanye ebyewuunyisa bya Katonda. |
| 15 |
| Omanyi Katonda lw'alagira ebire, n'abigamba ne bireeta ekimyanso? |
| 16 |
| Omanyi engeri gye bitengejjera waggulu, ebyewuunyisa by'oli Kalimagezi? |
| 17 |
| Ggwe eyeewogoma mu ngoye zo, ng'ensi esiriikiridde mu mpewo ey'emaserengeta, |
| 18 |
| obamba naye olubaale, olugumu ng'ebbumba ery'ekikomo? |
| 19 |
| “Tubuulire kye tuba tumugamba; ffe tetumanyi kutetenkanya bigambo olw'enzikiza. |
| 20 |
| Yandigambiddwa nti nnaayogera? Omuntu yandigambye amiribwe? |
| 21 |
| Sso kati omuntu tatunula mu kitangaala, nga kyaka mu bire, ng'empewo efuuwa, n'ebigobawo. |
| 22 |
| Mu mambuka wava okutangalijja ng'okwa zaabu; awali Katonda weetooloddwa entiisa ey'ekitalo. |
| 23 |
| Tetuyinza kutuuka Muyinza wa buli kantu; asukkulumye obukulu n'ennamula, mu butuukirivu bwe obungi tayinza kunyigiriza. |
| 24 |
| Abantu kyebava bamutya, anti teyeeguya abo abeerowooza nti ba mutima mugezi.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/job/037.mp3
42
37