Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| “Kino kikankanya omutima gwange, ne gubuuka okuva mu kifo kyagwo. |
| 2 |
| Wuliriza okubwatuka kw’eddoboozi lye, n’okuwuluguma okuva mu kamwa ke. |
| 3 |
| Asumulula eggulu ne limyansa wansi w’eggulu wonna, n’aliragira ligende ku nkomerero y’ensi. |
| 4 |
| Kino oluggwa, okuwuluguma kw’eddoboozi lye kwe kuddako, abwatuka n’eddoboozi lye ery’omwanguka, era eddoboozi lye bwe liwulirwa, tewabaawo kisigala nga bwe kibadde. |
| 5 |
| Eddoboozi lya Katonda libwatuka mu ngeri ey’ekitalo; akola ebintu ebikulu ebisukka okutegeera kwaffe. |
| 6 |
| Agamba omuzira nti, ‘Ggwa ku nsi,’ ate eri enkuba etonnya nti, ‘Ttonnya nnyo.’ |
| 7 |
| Emirimu gya buli muntu giyimirira, buli omu n’alyoka amanya amaanyi ga Katonda. |
| 8 |
| Ensolo ne ziryoka zessogga empuku zaazo, ne zigenda zeekukuma. |
| 9 |
| Omuyaga ne gulyoka guva mu nnyumba yaagwo, n’obunnyogovu ne buva mu mpewo ekuŋŋunta. |
| 10 |
| Omuzira ne guva mu mukka gwa Katonda n’amazzi amangi ne gekwata kitole. |
| 11 |
| Ebire abijjuza amatondo g’amazzi, n’asaasaanya okumyansa kw’eggulu. |
| 12 |
| Byetooloolatooloola nga y’abiragira, ne bituukiriza byonna by’abiragira, ku nsi yonna okubeera abantu. |
| 13 |
| Bwe kuba kubonereza, oba okufukirira ensi oba okulaga okwagala kwe, atonnyesa enkuba. |
| 14 |
| “Wuliriza kino Yobu; sooka oyimirire olowooze ku bikolwa bya Katonda eby’ettendo. |
| 15 |
| Omanyi Katonda engeri gy’alagiramu ebire, n’aleetera eggulu okumyansa? |
| 16 |
| Omanyi engeri ebire gye bituulamu mu bbanga, amakula g’emirimu gy’oyo eyatuukirira mu kumanya? |
| 17 |
| Ggwe alina ebyambalo ebibuguma, ensi bw’eba ng’ekkakkanyizibbwa embuyaga ez’obukiikaddyo, |
| 18 |
| oyinza okumwegattako ne mubamba eggulu, eryaguma ne libeera ng’endabirwamu ensanuuse? |
| 19 |
| “Tubuulire kye tunaamugamba; tetusobola kuwoza nsonga zaffe gy’ali olw’ekizikiza kye tulimu. |
| 20 |
| Asaanidde okubuulirwa kye njagala okwogera? Eriyo omuntu yenna ayinza okusaba okumalibwawo? |
| 21 |
| Kaakano tewali n’omu ayinza kutunula mu njuba, olw’engeri gy’eyakamu ku ggulu, ng’empewo emaze okuyita, n’eyelula ebire. |
| 22 |
| Mu bukiikakkono evaayo zaabu; Katonda ajja mu kitiibwa eky’amaanyi. |
| 23 |
| Ayinzabyonna tatuukikako era agulumidde mu maanyi, mu bwenkanya bwe era ne butuukirivu bwe, tawaliriza muntu yenna. |
| 24 |
| Noolwekyo abantu bamutya, takitwala ng’ekikulu olw’abo abeerowooza okuba abagezi mu mitima gyabwe.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/job/037.mp3
42
37