|
| 1 |
|
| Era n'ekyo kikankanya omutima gwange, Ne guntundugga. |
|
| 2 |
|
| Muwulire okubwatuka kw'eddoboozi lye, N'okududuma okuva mu kamwa ke. |
|
| 3 |
|
| Akusindika wansi w'eggulu lyonna, N'okumyansa kwe kubuna enkomerero y'ensi. |
|
| 4 |
|
| Oluvannyuma lwakwo eddoboozi ne liwuluguma, Ne libwatuka n'entiisa. Liwulirwa, nga n'okumyansa bwe kugenda mu maaso. |
|
| 5 |
|
| Okubwatuka kw'eddoboozi lya Katonda kwa kitalo! Akola ebikulu bye tutayinza kutegeera. |
|
| 6 |
|
| Kubanga agamba omuzira nti, ‘Gwa ku nsi.’ N'ekire ky'enkuba nti, ‘Tonnya n'amaanyi.’ |
|
| 7 |
|
| Ayimiriza emirimu gya buli muntu, Abantu bonna be yatonda balyoke bamanye by'akola. |
|
| 8 |
|
| Awo ensolo zigenda gye zekweka, Ne zibeera mu mpuku zaazo, |
|
| 9 |
|
| Embuyaga n'eva mu bukiikaddyo, N'empewo n'eva mu bukiikakkono. |
|
| 10 |
|
| Omukka gwa Katonda gwe guleeta omuzira. Amazzi ne gakwata ng'ejjinja. |
|
| 11 |
|
| Ajjuza amazzi ekire ekikutte. Ebire bibunya wonna okumyansa kwe. |
|
| 12 |
|
| Era ebire byetooloola eno n'eri nga bw'aba abiragidde. Bikolera ku biragiro bye, Buli wantu gye biraga. |
|
| 13 |
|
| Atonnyesa enkuba ku nsi, Olumu kubonereza, oluusi kulaga kisaakye. |
|
| 14 |
|
| Ekyo kiwulire, ggwe Yobu: Siriikirira olowooze ku bikolwa bya Katonda eby'ekitalo. |
|
| 15 |
|
| Omanyi Katonda bw'alagira ebire, Okumyansa ne kuvaayo mu byo? |
|
| 16 |
|
| Omanyi nga ebire bwe biseeyeeya mu bbanga, Ekiraga obukulu bwa Katonda obw'ekitalo? |
|
| 17 |
|
| Otuuyanira mu byambalo byo mu budde obw'ebbugumu, Ensi ng'esirise olw'embuyaga eva mu bukiikaddyo. |
|
| 18 |
|
| Oyinza okubamba eggulu nga ye, Ne limasamasa ng'endabirwamu? |
|
| 19 |
|
| Tuyigirize bye tuba tumugamba; Kubanga tetuliiko kye tumanyi tuli mu kizikiza. |
|
| 20 |
|
| Bakimugambe nti njagala okwogera naye? Mba noonya kusaanyizibwawo? |
|
| 21 |
|
| Kizibu abantu okutunula mu kitangaala ekyo ku ggulu, Embuyaga bw'emala okwerawo ebire. |
|
| 22 |
|
| Mu bukiikakkono ye va okwakaayakana okuli nga zaabu. Ekitiibwa kya Katonda kitukuba entiisa! |
|
| 23 |
|
| Omuyinza w'ebintu byonna tetuyinza kumusemberera. wa buyinza bungi, Mutuukirivu era mwenkanya ku kusala kwe. |
|
| 24 |
|
| Abantu kyebaava bamutya. Tassa mwoyo ku abo bonna abeerowooza okuba abagezi.” |
|
|
|
|