|
| 1 |
|
| Awo Mukama n'alyoka addamu Yobu ng'ayima mu mbuyaga ez'akazimu n'ayogera nti |
|
| 2 |
|
| Ani ono aleeta akizikiza mu kuteesa N'ebigambo ebitaliimu kumanya? |
|
| 3 |
|
| Kale nno weesibe ekimyu ng'omusajja; Kubanga naakubuuza, naawe onziremu. |
|
| 4 |
|
| Wali oli ludda wa bwe nnassaawo emisingi gy'ensi? Yatula oba olina okutegeera. |
|
| 5 |
|
| Ani eyateesa ebigera byayo, oba nga omanyi? Oba ani eyagireegera omugwa? |
|
| 6 |
|
| Emisingi gyayo gyasibirwa ku ki? Oba ani eyassaawo ejjinja lyayo ekkulu ery'oku nsonda; |
|
| 7 |
|
| Emmunyeenye ez'enkya bwe zaayimbira awamu, N'abaana ba Katonda bonna ne boogerera waggulu olw'essanyu? |
|
| 8 |
|
| Oba ani eyasiba ennyanja n'enzigi, Bwe yawaguza ng'ekiva mu lubuto; |
|
| 9 |
|
| Bwe nnafuula ekire okuba ekyambalo kyayo, N'ekizikiza ekikutte okuba ebiwero eby'okubikka, |
|
| 10 |
|
| Bwe nnagiragira etteeka lyange, Ne nzisaawo ebisiba n'enzigi, |
|
| 11 |
|
| Ne njogera nti Wano w'okomanga so tosukkangawo; Era wano amayengo go ag'amalala we gaziyirizibwanga? |
|
| 12 |
|
| Wali olagidde enkya ennaku zo kasookedde zibaawo, Wali omanyisizza emmambya ekifo kyayo; |
|
| 13 |
|
| Ekwate enkomerero z'ensi, Era ababi bakunkumulwe okugivaamu? |
|
| 14 |
|
| Ewaanyisibwa ng'ebbumba wansi w'akabonero; N'ebintu byonna bikukunuka ng'ekyambalo: |
|
| 15 |
|
| N'ababi omusana gwabwe gubaggibwako, N'omukono ogugulumizibwa gumenyeka. |
|
| 16 |
|
| Wali oyingidde mu nsulo ez'ennyanja? Oba wali otambudde mu madubi ag'obuziba? |
|
| 17 |
|
| Enzigi ez'okufa zaali zikubikkuliddwa? Oba wali olabye enzigi ez'ekisiikirize eky'okufa? |
|
| 18 |
|
| Wali otegedde ensi bw'eri engazi? Yatula, oba nga obimanyi byonna. |
|
| 19 |
|
| Ekkubo liri ludda wa eridda mu nnyumba ey'omusana, N'ekizikiza ekifo kyakyo kiri ludda wa; |
|
| 20 |
|
| Ggwe okukiwerekera ku mbibi yaakyo? Era otegeere okutuuka ku nnyumba yaakyo? |
|
| 21 |
|
| Omanyi, kubanga wali ozaaliddwa mu biro ebyo; N'omuwendo gw'ennaku zo mungi! |
|
| 22 |
|
| Wali oyingidde mu mawanika g'amazzi amakwafu, Oba wali olabye amawanika ag'omuzira, |
|
| 23 |
|
| Ge nnaterekera ebiro eby'okulabiramu ennaku, Olunaku olw'olutalo n'obulwa? |
|
| 24 |
|
| Mu kkubo ki omusana mwe gwawukanira, Oba embuyaga ez'ebuvanjuba mwe zisaasaanira ku nsi? |
|
| 25 |
|
| Ani eyasalira amataba olusalosalo, Oba ekkubo ery'enjota ez'okubwatuka; |
|
| 26 |
|
| Okutonnyesa enkuba ku nsi okutali muntu; Mu ddungu omutali muntu n'omu; |
|
| 27 |
|
| Okukkusa ettaka eryazika eryalekebwa; N'okulosa omuddo omuto? |
|
| 28 |
|
| Enkuba erina kitaawe waayo? Oba ani eyazaala amatondo ag'omusulo? |
|
| 29 |
|
| Mu lubuto lw'ani omwava amazzi amakwafu? N'omusulo omukwafu omweru ogw'omu ggulu ani eyaguzaala? |
|
| 30 |
|
| Amazzi gakwekebwa nga gakwekeddwa n'amayinja. Ne kungulu ku buziba nga kukutte. |
|
| 31 |
|
| Oyinza okusiba ekikuukuulu kya Kakaaga, Oba okusumulula olukoba lw'Entungalugoye? |
|
| 32 |
|
| Oyinza okufulumya emmunyeenye mu ntuuko zaazo? Oba oyinza okuluŋŋamya Nabaliyo n'abaana be? |
|
| 33 |
|
| Omanyi ebiragiro eby'omu ggulu? Oyinza okunyweza okufuga kwalyo mu nsi? |
|
| 34 |
|
| Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo eri ebire, Amazzi amangi ennyo gakubikkeko? |
|
| 35 |
|
| Oyinza okuweereza enjota zitambule, Ne zikugamba nti Ffe tuutuno? |
|
| 36 |
|
| Ani eyateeka amagezi mu bitundu eby'omunda? Oba ani eyawa emmeeme okutegeera? |
|
| 37 |
|
| Ani ayinza okubala ebire olw'amagezi? Oba ani ayinza okuttulula amaliba ag'omu ggulu, |
|
| 38 |
|
| Enfuufu bw'ekulukuta n'eba effunfugu, Amafunfugu ne geegattira ddala? |
|
| 39 |
|
| Onooyiggira empologoma enkazi omuyiggo? Oba onokkusa okwegomba kw'abaana b'empologoma, |
|
| 40 |
|
| Bwe zisula mu mpuku zaazo, Ne zibeera mu bisaka okuteega? |
|
| 41 |
|
| Ani alabira namuŋŋoona emmere ye, Abaana be bwe bakaabira Katonda, Ne batambulatambula olw'okubulwa ebyokulya? |
|
|
|
|