|
| 1 |
|
| Awo Mukama n'addamu Yobu ng'asinziira mu mbuyaga ey'amaanyi, n'agamba nti: |
|
| 2 |
|
| “Ani oyo aziyiza entegeka yange okutegeerekeka, ng'ayogera ebiraga obutamanya? |
|
| 3 |
|
| Kale weesibe ekimyu ng'omusajja, onziremu bye nkubuuza. |
|
| 4 |
|
| “Wali oli ludda wa bwe nassaawo emisingi gy'ensi? Mbuulira, oba okitegeera. |
|
| 5 |
|
| Ani yasalawo bw'enenkana obunene? Oba ani yagipimisa omuguwa? Tolema ggwe kumanya. |
|
| 6 |
|
| Emisingi gyayo giri ku ki? Oba ani yasimba ejjinja lyayo ery'omu nsonda, |
|
| 7 |
|
| emmunyeenye z'oku makya bwe zaayimbira awamu ne bannaggulu, ne baleekaana olw'essanyu? |
|
| 8 |
|
| Oba ani yaggalira ennyanja enzigi, bwe yawaguza ng'ekiva mu nda ya nnyina waakyo? |
|
| 9 |
|
| Nze nafuula ebire ekyambalo kyayo, n'ekizikiza ekikutte ne nkifuula obugoye obugibikka. |
|
| 10 |
|
| Nagiteerawo ekkomo lyayo, Ne nteekawo enzigi n'ebisiba. |
|
| 11 |
|
| Ne ngigamba nti: ‘Okomanga wano, era tosukkangawo. N'amayengo go agasuukiira we ganaaziyirizibwanga.’ |
|
| 12 |
|
| “Bukya obaawo, wali olagidde emmambya ejje era olunaku lukye, |
|
| 13 |
|
| ekitangaala kibune buli kanyomero ka nsi, kigobewo ababi beekweke? |
|
| 14 |
|
| Olwo ensi evaayo n'erabika ng'eri ng'ekyambalo, ekya langi ennyingi. |
|
| 15 |
|
| Ababi ekitangaala kibamalako eddembe, ne baziyizibwa okukola eby'obukambwe. |
|
| 16 |
|
| Wali otuuse ebuziba, awali ensulo z'ennyanja? Wali otambulidde wansi eyo ku ntobo y'ennyanja? |
|
| 17 |
|
| Waliwo eyali akulaze enzigi z'emagombe, eziyingira mu kizikiza awakuumirwa abaafa? |
|
| 18 |
|
| Wali otegedde ensi bw'eri obugazi? Nziramu oba byonna obimanyi. |
|
| 19 |
|
| Omanyi ekkubo erituusa awasula ekitangaala? Ekizikiza bwe kivaawo kiraga wa? |
|
| 20 |
|
| Oyinza okubiggyayo mu kifo kyabyo? Era otegeera amakubo agatuusa gye bisula? |
|
| 21 |
|
| Omanyi, kubanga wali muzaale mu bbanga eryo! Nga mingi emyaka gy'owangadde! |
|
| 22 |
|
| Wali oyimiridde mu mawanika ng'omuzira? Wali olabye awaterekebwa amayinja ag'omuzira, |
|
| 23 |
|
| ge nterekera ekiseera ekizibu, olunaku lw'obulwa n'otulo? |
|
| 24 |
|
| Kkubo ki erituusa mu kifo omwawukanira ekitangaala? Oba embuyaga z'ebuvanjuba mwe zisaasaanira ku nsi? |
|
| 25 |
|
| Ani yatema ku ggulu emikutu enkuba mw'eyita eyiike? Oba ekkubo ly'okubwatuka kw'eraddu? |
|
| 26 |
|
| Ani atonnyesa enkuba mu bitundu ebitabeeramu bantu? N'etonnya mu ddungu omutaba muntu n'omu, |
|
| 27 |
|
| okufukirira ensi eyazika enkalu erekeddwa awo, emeremu omuddo omuto? |
|
| 28 |
|
| Enkuba erina kitaawe waayo? Oba ani azaala amatondo g'omusulo? |
|
| 29 |
|
| Omuzira guva mu nda ye ani? N'omusulo ogutonnyerera ng'olukubakuba ne gukwata, ani aguzaala? |
|
| 30 |
|
| Amazzi gafuuka amakalubo ng'ejjinja, ne kungulu w'ennyanja ne wakwata. |
|
| 31 |
|
| Oyinza okusiba ekikuukuulu ky'emmunyeenye ekiyitibwa Kakaaga? Oba okusumulula emiguwa egigatta ezo eziyitibwa Omuyizzi? |
|
| 32 |
|
| Oyinza okufulumya emmunyeenye zirabikire mu budde bwazo? Oba oyinza okuluŋŋamya Ddubu ennene n'abaana baayo? |
|
| 33 |
|
| Omanyi ebiragiro ebifuga mu ggulu? Oyinza okubikozesa okufuga ne mu nsi? |
|
| 34 |
|
| Oyinza okuboggolera ebire okubiragira bikubunduggulireko amazzi? |
|
| 35 |
|
| Oyinza okuweereza ebimyanso by'eggulu bigende, ne bikugamba nti: ‘Tuutuno?’ |
|
| 36 |
|
| Ani yateeka mu bire amagezi, ag'okutonnyesa enkuba? N'eyawa olufu okutegeera engeri gye lunaagwangamu? |
|
| 37 |
|
| Ani ayinza okukozesa amagezi n'abala ebire? Oba ani ayinza okuttulula amaliba g'omu ggulu ago, |
|
| 38 |
|
| enfuufu n'efuuka ettosi, ebitoomi ne byekwata? |
|
| 39 |
|
| “Onooyiggira empologoma enkazi by'erya? Oba onoogabirira empologoma ento ozikkuse, |
|
| 40 |
|
| bwe zeebaka mu mpuku zaayo, oba bwe zibwama mu bisaka okuteega? |
|
| 41 |
|
| Ani aliisa binnamuŋŋoona bwe bitambulatambula okunoonya emmere, ng'abaana baabyo bankaabirira? |
|
|
: |
| 1 | | 2 | | 3 | | 4 | | 5 | | 6 | | 7 | | 8 | | 9 | | 10 | | 11 | | 12 | | 13 | | 14 | | 15 | | 16 | | 17 | | 18 | | 19 | | 20 | | 21 | | 22 | | 23 | | 24 | | 25 | | 26 | | 27 | | 28 | | 29 | | 30 | | 31 | | 32 | | 33 | | 34 | | 35 | | 36 | | 37 | | 38 | | 39 | | 40 | | 41 | 1
1
1 |
|
|---|
|
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/job/038.mp3
42
38