|
| 1 |
|
| Mukama n’addamu Yobu ng’ayita mu muyaga, n’ayogera nti, |
|
| 2 |
|
| “Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange, n’ebigambo ebitaliimu magezi? |
|
| 3 |
|
| Yambala ebyambalo byo ng’omusajja, mbeeko bye nkubuuza naawe onziremu. |
|
| 4 |
|
| “Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gy’ensi? Mbuulira bw’oba otegeera. |
|
| 5 |
|
| Ani eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ng’omanyi! Oba ani eyagipima n’olukoba? |
|
| 6 |
|
| Entobo zaayo zaateekebwa ku ki? |
|
| 7 |
|
| Emunyeenye ez’oku makya bwe zaali ziyimba, era n’abaana ba Katonda bonna nga baleekaana olw’essanyu, |
|
| 8 |
|
| ani eyasiba enzigi n’aggalira ennyanja, bwe yava mu lubuto lwayo? |
|
| 9 |
|
| “Bwe nakolera ebire ekyambalo kyabyo, ne mbisibira mu kizikiza ekikwafu, |
|
| 10 |
|
| bwe n’abiteekerawo we bikoma ne mbiteerako emitayimbwa n’enzigi, |
|
| 11 |
|
| bwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo, era wano amayengo gammwe ag’amalala we ganaakoma? |
|
| 12 |
|
| “Oba wali olagidde ku budde okukya kasookedde obaawo ku nsi, oba emmambya okugiraga ekifo kyayo, |
|
| 13 |
|
| eryoke ekwate ensi w’ekoma eginyeenye esuule eri ababi bagiveeko bagwe eri? |
|
| 14 |
|
| Ensi eggyayo ebyafaayo byayo n’eba ng’ebbumba wansi w’akabonero, ebyafaayo ebyo ne byefaananyiriza olugoye. |
|
| 15 |
|
| Abakozi b’ebibi bammibwa ekitangaala kyabwe, n’omukono gwabwe gwe bayimusa gumenyebwa. |
|
| 16 |
|
| “Wali otuuseeko ku nsulo ennyanja w’esibuka, oba n’olaga mu buziba bw’ennyanja? |
|
| 17 |
|
| Wali obikuliddwa enzigi z’emagombe? Oba wali olabye enzigi z’ekisiikirize ky’okufa? |
|
| 18 |
|
| Wali otegedde obugazi bw’ensi? Byogere, oba bino byonna obimanyi. |
|
| 19 |
|
| “Ekkubo eridda mu nnyumba omusana gye gusula liri ludda wa? N’ekifo ekizikiza gye kisula kye kiruwa? |
|
| 20 |
|
| Ddala, osobola okubitwala gye bibeera? Omanyi ekkubo erigenda gye bisula? |
|
| 21 |
|
| Ddala oteekwa okuba ng’obimanyi, kubanga wali wazaalibwa dda! |
|
| 22 |
|
| “Wali oyingidde amazzi agakwata mu butiti, gye gaterekebwa, oba wali olabye omuzira gye guterekebwa? |
|
| 23 |
|
| Bye nterekera ebiseera eby’emitawaana, bikozesebwe mu nnaku ez’entalo n’okulwana? |
|
| 24 |
|
| Kkubo ki erituusa ekitangaala ky’omusana gye kisaasaanira, oba empewo ey’ebuvanjuba gy’esaasaanira ku nsi? |
|
| 25 |
|
| Ani akubira amataba emikutu mwe ganaayita, oba ekkubo eggulu eribwatuka mwe liyita? |
|
| 26 |
|
| Ani atonnyesa enkuba mu nsi abantu mwe batabeera, eddungu omutali muntu yenna, |
|
| 27 |
|
| n’okufukirira ettaka eryalekebwa awo, eryazika, n’okulimezaako omuddo? |
|
| 28 |
|
| Enkuba erina kitaawe waayo? Ani azaala amatondo ag’omusulo? |
|
| 29 |
|
| Omuzira guva mu lubuto lw’ani? Ani azaala obutiti obukwafu obw’omu ggulu, |
|
| 30 |
|
| amazzi mwe gakwatira ne gakaluba ng’amayinja, ne kungulu kw’obuziba ne kukwata? |
|
| 31 |
|
| “Oyinza okuziyiza okwakaayakana kwa Kakaaga, oba okutaggulula enkoba za Ntungalugoye? |
|
| 32 |
|
| Oyinza okufulumya emunyeenye ziveeyo zaake ng’ekiseera kyazo kituuse, oba okuluŋŋamya eddubu n’abaana balyo? |
|
| 33 |
|
| Omanyi amateeka n’obufuzi bw’eggulu? Oyinza okuteekawo obufuzi bw’alyo oba obwa Katonda ku nsi? |
|
| 34 |
|
| “Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo oleekaanire ebire, olyoke obiggyemu amataba gakubikke? |
|
| 35 |
|
| Ggwe otuma eggulu limyanse era libwatuke? Lisobola okukweyanjulira nti, ‘Tuutuno tuli wano’? |
|
| 36 |
|
| Ani eyateeka amagezi mu mutima gw’omuntu, oba eyateeka okutegeera mu mmeeme? |
|
| 37 |
|
| Ani alina amagezi agabala ebire? Ani ayinza okuwunzika ebibya by’amazzi eby’omu ggulu, |
|
| 38 |
|
| enfuufu ng’efuuse ettaka ekkalu, era amafunfugu ne geegattira ddala? |
|
| 39 |
|
| “Empologoma enkazi, oyinza okugiyiggira ky’eneerya, oba okuliisa empologoma n’ozimalako enjala, |
|
| 40 |
|
| bwe zeezinga mu mpuku zaazo, oba bwe zigalamira nga ziteeze mu bisaka? |
|
| 41 |
|
| Ani awa namuŋŋoona emmere, abaana baayo bwe bakaabirira Katonda, nga batambulatambula nga babuliddwa emmere?” |
|
|
|
|