|
| 1 |
|
| Omanyi ebiro embulabuzi ez'oku njazi mwe zizaalira? Oba oyinza okutegeera empeewo bwe ziba n'amawako? |
|
| 2 |
|
| Oyinza okubala emyezi gye zimala? Oba omanyi ebiro mwe zizaalira? |
|
| 3 |
|
| Zikutama, zizaala abaana baazo, Zeggyamu obubalagaze bwazo. |
|
| 4 |
|
| Abaana baazo bagejja, bakulira ebweru ku ttale; Bafuluma ne batadda. |
|
| 5 |
|
| Ani eyata entulege okuba ey'eddembe? Oba ani eyasumulula enkoba ez'entulege? |
|
| 6 |
|
| Nafuula ensiko okuba ennyumba yaayo, N'ensi ey'omunnyo okuba ekifo w'ebeera. |
|
| 7 |
|
| Enyooma oluyoogaano olw’omu kibuga, So tewulira kulekaana kwa mugobi. |
|
| 8 |
|
| Ensozi bwe zenkana obugazi lye ddundiro lyayo, Era enoonya buli kintu ekibisi. |
|
| 9 |
|
| Embogo enekkirizanga okukuweereza? Oba eneebeeranga awali ekisibo kyo? |
|
| 10 |
|
| Oyinza okusiba embogo n'olukoba lwayo ku kibibi? Oba eneerimanga ebiwonvu ng'ekuvaako ennyuma? |
|
| 11 |
|
| Onoogyesiganga kubanga amaanyi gaayo mangi? Oba onoogirekeranga omulimu gwo? |
|
| 12 |
|
| Onoogyesiganga okukomyawo ewuwo ensigo zo, N'okukuŋŋaanyanga eŋŋaano ey'omu gguuliro lyo? |
|
| 13 |
|
| Ekiwaawaatiro kya maaya kisanyuka; Naye ebiwaawaatiro bye n'ebyoya birina ekisa? |
|
| 14 |
|
| Kubanga aleka amagi ge ku ttaka, N'egabugumya mu musenyu, |
|
| 15 |
|
| Ne yeerabira ng'ekigere kiyinza okugabetenta, Oba ensolo ey'omu nsiko eyinza okugalinnyirira. |
|
| 16 |
|
| Akakanyalira abaana be ng'abatali babe: Newakubadde ng'ateganira bwereere talina kutya; |
|
| 17 |
|
| Kubanga Katonda yamuggyako amagezi, So tamuwadde kutegeera. |
|
| 18 |
|
| Bw'aba nga yeegulumizizza, Anyooma embalaasi n'oyo agyebagala. |
|
| 19 |
|
| Wawa embalaasi amaanyi gaayo? Wayambaza obulago bwayo n'olugiŋŋirima olukankana? |
|
| 20 |
|
| Wagibuusa ng'enzige? Ekitiibwa ky'okufugula kwayo kya ntiisa. |
|
| 21 |
|
| Etakulira mu kiwonvu, n'esanyukira amaanyi gaayo: Efuluma okusisinkana n'abasajja abakutte ebyokulwanyisa. |
|
| 22 |
|
| Esekerera okutya so tekeŋŋentererwa; so tedda nnyuma awali ekitala. |
|
| 23 |
|
| Omufuko guwulungutira ku yo, Effumu erimasamasa n'akasaale. |
|
| 24 |
|
| Emira ettaka n'obusungu n'ekiruyi; So tekkiriza nga lye ddoboozi ery'ekkondeere. |
|
| 25 |
|
| Ekkondeere buli lwe livuga, n'eyogera nti Bw'otyo N'ekonga olutalo nga lukyali wala, Okubwatuka kw'abaami n'okuleekaana. |
|
| 26 |
|
| Magga atumbiira na magezi go, N'abamba abiwaawaatiro bye eri obukiika obwa ddyo? |
|
| 27 |
|
| Empungu erinnya na kiragiro kyo, N'ekola ekisu kyayo waggulu? |
|
| 28 |
|
| Ebeera ku jjinja, n'ennyumba yaayo eri okwo, Ku linnyo ly'ejjinja n'ekifo eky'amaanyi. |
|
| 29 |
|
| Erengera omuyiggo ng'eyima okwo; Amaaso gaayo gagulaba nga guli wala. |
|
| 30 |
|
| Era n'abaana baayo banuuna omusaayi: Era awaba emirambo, gy'ebeera eyo. |
|
|
|
|