|
| 1 |
|
| “Omanyi ebiseera engabi ez'omu nsozi mwe zizaalira? Oba wali weetegerezza empeewo bw'ezaala? |
|
| 2 |
|
| Oyinza okubala emyezi gye zimala n'amawako? Oba omanyi ebbanga lye zizaalirako, |
|
| 3 |
|
| lwe zifukamira ne zizaala abaana baazo, ne ziryoka ziwona obulumi? |
|
| 4 |
|
| Abaana baazo bafuna amaanyi, ne bakulira mu ttale ebweru. Bagenda ne batakomawo we ziri. |
|
| 5 |
|
| Ani yata entulege n'aleka ebe ya ddembe? Eyagiyimbula ye ani, edduke nga bw'eyagala? |
|
| 6 |
|
| Nze nagiwa eddungu okuba amaka gaayo, n'ensi y'omunnyo okuba ekifo kyayo. |
|
| 7 |
|
| Oluyoogaano lw'ekibuga terwetaaga. Tewuliriza mugobi alagira na bboggo. |
|
| 8 |
|
| Etaayaaya mu nsozi, lye ddundiro lyayo, era mwe yeenoonyeza buli kibisi ky'erya. |
|
| 9 |
|
| Embogo enekkiriza okukuweerezanga ggwe? Erisulako awali emmanvu ebisolo mwe biriira? |
|
| 10 |
|
| Oyinza okugisiba olukoba ekutemere ebikata? Oba ekusikire enkumbi ekulimire ebisenyi? |
|
| 11 |
|
| Onoogyesiga olw'amaanyi gaayo g'erina amangi? N'ogirekera omulimu gw'eneekukolera? |
|
| 12 |
|
| Ogyesiga nti ekomawo ekuleetere ensigo zo mu gguuliro lyo? |
|
| 13 |
|
| “Ebiwaawaatiro bya maaya ebizinyisa ng'esanyuka. Naye ebiwaawaatiro byayo ebyo n'ebyoya byayo, biba n'ekisa? |
|
| 14 |
|
| Kubanga ereka amagi gaayo ku ttaka gabugumizibwe musenyu. |
|
| 15 |
|
| Ne yeerabira nti ekigere kiyinza okugabetenta, oba ekisolo okugalinnyirira. |
|
| 16 |
|
| Eyisa bubi abaana baayo, ng'abatali b'ezaala. N'eraga nti tefaayo kuteganira bwereere. |
|
| 17 |
|
| Kubanga saagikkiriza kubeera na magezi. Era saagiwa kutegeera. |
|
| 18 |
|
| Naye bw'etandika okudduka temanya mbalaasi na mwebagazi! |
|
| 19 |
|
| Embalaasi ggwe ogiwa amaanyi, n'obulago obukankanya olugiŋŋirima? |
|
| 20 |
|
| Ggwe ogibuusa ng'enzige n'eba n'okufugula okw'entiisa? |
|
| 21 |
|
| Esamba n'obukambwe mu kiwonvu, Efubutuka okulumba ebyokulwanyisa by'omulabe. |
|
| 22 |
|
| Temanyi kiyitibwa kutya. Tedda mabega olw'ekitala. |
|
| 23 |
|
| Ensawo y'obusaale, n'effumu erimyamyansa, n'omuwunda, bikubaganira ku yo. |
|
| 24 |
|
| Efuumuuka emisinde mu busungu obungi, tetereera ng'ewulidde eŋŋombe. |
|
| 25 |
|
| Buli lwe bafuuwa eŋŋombe, n'efugula nti: ‘Otyo!’ Olutalo n'okuleekaana kw'abaduumizi ebikonga ng'ekyali wala. |
|
| 26 |
|
| Ggwe oyigiriza magga okutumbiira, n'abamba ebiwaawaatiro bye, ayolekere obukiikaddyo? |
|
| 27 |
|
| Ggwe olagira empungu okulinnya n'ekola ekisu kyayo waggulu mu nsozi entumbiivu? |
|
| 28 |
|
| Ezimba mu mpompogoma z'enjazi engulumivu, n'ebeera eyo. |
|
| 29 |
|
| Eyo gy'esinziira okuketta ky'enetta erye, Amaaso gaayo ne gakirengerera wala. |
|
| 30 |
|
| Abaana baayo banywa omusaayi. Awali ekifudde, yo w'ebeera.” |
|
|
: |
| 1 | | 2 | | 3 | | 4 | | 5 | | 6 | | 7 | | 8 | | 9 | | 10 | | 11 | | 12 | | 13 | | 14 | | 15 | | 16 | | 17 | | 18 | | 19 | | 20 | | 21 | | 22 | | 23 | | 24 | | 25 | | 26 | | 27 | | 28 | | 29 | | 30 | 1
1
1 |
|
|---|
|
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/job/039.mp3
42
39