|
| 1 |
|
| “Omanyi ebiro embuzi z’oku nsozi mwe zizaalira? Oba oyinza okumanya empeewo we ziwakira? |
|
| 2 |
|
| Oyinza okubala emyezi gye zimala zizaale? Omanyi obudde mwe zizaalira? |
|
| 3 |
|
| Zikutama ne zizaala abaana baazo, ne ziwona obulumi bw’okuzaala. |
|
| 4 |
|
| Abaana baazo bakula ne bagejjera ku ttale, batambula ne bagenda obutadda. |
|
| 5 |
|
| “Ani eyaleka entulege okwetambulira mu ddembe lyayo? Ani eyasumulula emiguwa gyayo, |
|
| 6 |
|
| gye nawa ensi ey’omuddo okuba amaka gaayo, n’ensi ey’omunnyo okubeerangamu? |
|
| 7 |
|
| Esekerera oluyoogaano lw’ekibuga, tewuliriza kulekaana kw’abavuzi ba bidduka. |
|
| 8 |
|
| Ebuna ensozi, ly’eddundiro lyayo, ng’enoonya ekintu kyonna ekibisi. |
|
| 9 |
|
| “Embogo eyinza okukkiriza okuba omuweereza wo, n’esula ekiro mu kisibo kyo? |
|
| 10 |
|
| Oyinza okugisiba ku muguwa n’ogirimisa olubimbi? Eyinza okukuvaako emabega ng’erima mu kiwonvu. |
|
| 11 |
|
| Oyinza okugyesiga olw’amaanyi gaayo amangi? Oyinza okugirekera emirimu gyo egy’amaanyi? |
|
| 12 |
|
| Oyinza okugyesiga okukuleetera emmere yo ey’empeke, oba okukuleetera eŋŋaano mu gguuliro lyo? |
|
| 13 |
|
| “Ebiwaawaatiro bya maaya bisanyusa nga byewujja, naye ebiwaawaatiro n’ebyoya bya kalooli tebiraga kisa. |
|
| 14 |
|
| Kubanga emaaya ebiika amagi gaayo ku ttaka, n’egaleka ne gabugumira mu musenyu, |
|
| 15 |
|
| ne yeerabira nti, ekigere kisobola okugaasa, era nga ensolo ey’omu nsiko eyinza okugalinnya. |
|
| 16 |
|
| Obwana bwayo ebuyisa bubi ng’obutali bwayo gy’obeera nti, yazaalira bwereere. |
|
| 17 |
|
| Kubanga Katonda teyagiwa magezi wadde okutegeera. |
|
| 18 |
|
| Ate bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo edduke esoomooza embalaasi n’omugoba waayo. |
|
| 19 |
|
| “Embalaasi ggwe ogiwa amaanyi, oba ggwe oyambaza ensingo yaayo obwoya obwewumba? |
|
| 20 |
|
| Ggwe ogisobozesa okubuuka ng’enzige n’ekanga n’okukaaba kwayo okw’entiisa? |
|
| 21 |
|
| Etakula ettaka mu kiwonvu, nga yeeyagala olw’amaanyi gaayo, n’eryoka efuluma okusisinkana abalwanyi abakutte ebyokulwanyisa. |
|
| 22 |
|
| Esekerera okutya, n’eteba na kigitiisa. Ekitala tekigitiisa kugizza mabega. |
|
| 23 |
|
| Omufuko ogujjudde obusaale gwesuukundira ku lubuto lwayo, awamu n’effumu erimasamasa, n’akasaale. |
|
| 24 |
|
| Mu busungu obungi emira ettaka, tesobola kusigala mu kifo kimu ng’ekkondeere livuze. |
|
| 25 |
|
| Ekkondeere bwe livuga n’egamba nti, ‘Awo!’ N’ewunyiriza olutalo olukyali ewala, n’ewulira n’okuleekaana kwa baduumizi b’amaggye. |
|
| 26 |
|
| “Amagezi go ge gabuusa kamunye, n’ayanjuluza ebiwaawaatiro bye e bukiikaddyo? |
|
| 27 |
|
| Ggwe olagira empungu okubuukira ewala mu bbanga, era n’ezimba n’ekisu kyayo waggulu ennyo? |
|
| 28 |
|
| Ku lwazi kw’ezimba amaka gaayo ekiro n’esula okwo, ku lwazi olunywevu olutabetentebwa. |
|
| 29 |
|
| Eyo gy’ekettera omuyiggo gw’eneerya, eriiso lyayo ligulengerera wala. |
|
| 30 |
|
| Obwana bwayo bunywa omusaayi, era awali emirambo w’ebeera.” |
|
|
|
|