|
| 1 |
|
| Awo Erifaazi Omutemani n'addamu Yobu nti, |
|
| 2 |
|
| “Omuntu bw'anaagezaako okwogera naawe, onoonyiiga? Naye ani ayinza okusirika obusirisi naatabaako kyayogera? |
|
| 3 |
|
| Wayigirizanga bangi, Era wanywezanga emikono eminafu. |
|
| 4 |
|
| Ebigambo byo byawaniriranga oyo eyeesittala, Era byamuwanga amaanyi n'anywera naatagwa. |
|
| 5 |
|
| Naye kaakano kituuse ku gwe, n'ozirika; Kikukuteko, ne weeraliikirira. |
|
| 6 |
|
| Okutya kwo Katonda si bwe bwesige bwo, N'obulamu bwo obulongoofu, tebukuwa ssuubi? |
|
| 7 |
|
| Nkwegayiridde, jjukira, ani eyali asaanyewo nga tazzizza musango? Oba walaba wa omutuukirivu ng'azikirizibwa? |
|
| 8 |
|
| Ndabye, abo abakabala obujeemu, Ne basiga okwonoona, era ebyo bye bakungula. |
|
| 9 |
|
| Katonda bwassiza omukka nga bazikirira, Nga kibuyaga, Katonda abamalawo mu busungu bwe. |
|
| 10 |
|
| Okuwuluguma kw'empologoma, n'eddoboozi ly'empologoma enkambwe, N'amannyo g'empologoma ento gamenyebwa. |
|
| 11 |
|
| Empologoma enkulu bw'efa ng'omuyiggo gugibuze, Olwo n'abaana baayo nga basaasaana. |
|
| 12 |
|
| Ekigambo kyandeeterwa mu kaama, N'okutu kwange kwa wulira kaama. |
|
| 13 |
|
| Mu kulowooza okw'omu kirooto okw'ekiro, Otulo otungi mwe tukwatira abantu, |
|
| 14 |
|
| Entiisa n'okukankana ne binkwata. Amagumba gange gonna ne ganyeenyezebwa. |
|
| 15 |
|
| Empewo ne yita mu maaso gange; Enviiri ne zinva ne ku mutwe gwange. |
|
| 16 |
|
| N'ayimirira buyimirizi, naye nga siyinza kwetegereza kye ndaba, Ekifaananyi kyali mu maaso gange: nga wonna kasirikiriro, ne mpulira eddoboozi nti: |
|
| 17 |
|
| Omuntu afa, alisinga Katonda obutuukirivu? Omuntu aliba mulongoofu n'asinga eyamukola? |
|
| 18 |
|
| Katonda teyeesiga baddu be, Ne bamalayika be abanenya olw'ensobi zaabwe. |
|
| 19 |
|
| Talisinga nnyo kubanga abo abasula mu nnyumba ez'ettala, Omusingi gwabwe guli mu nfuufu, Ababetentebwa okusinga n'ekiwojjolo! |
|
| 20 |
|
| Bazikiririra mu kiseera ekiri wakati w'enkya n'akawungeezi: Babula emirembe gyonna nga tewali akissaako mwoyo. |
|
| 21 |
|
| Balifa tebannaba bagezi. Ebintu byabwe abalala balibitwala.” |
|
|
|
|