|
| 1 |
|
| Era nate Mukama n'addamu Yobu n'ayogera nti |
|
| 2 |
|
| Aleeta ensonga ezitaliimu anaayombesa Omuyinza w'ebintu byonna? Awakanya Katonda akiwoze. |
|
| 3 |
|
| Awo Yobu n'alyoka addamu Mukama n'ayogera nti |
|
| 4 |
|
| Laba, siriimu ka buntu; n'akuddamu ntya? Nteeka omukono gwange ku kamwa kange. |
|
| 5 |
|
| Njogedde omulundi gumu, so ssiddemu; Weewaawo, emirundi ebiri, naye sseeyongere nate. |
|
| 6 |
|
| Awo Mukama n'addamu Yobu ng'ayima mu mbuyaga ez'akazimu n'ayogera nti |
|
| 7 |
|
| Weesibe nno ekimyu ng'omusajja: Naakubuuza, naawe onziremu. |
|
| 8 |
|
| N'okujjulula onojjulula omusango gwe nsala? Ggwe ononsalira nze omusango obeere n'obutuukirivu? |
|
| 9 |
|
| Oba olina omukono nga Katonda? Era oyinza okubwatuka n'eddoboozi erifaanana erirye? |
|
| 10 |
|
| Weeyonje nno n'okuwooma n'okutiibwa; Yambala ekitiibwa n'obukulu. |
|
| 11 |
|
| Fuka obusungu bwo okusukkiridde: Otunuulire buli muntu ow'amalala omujeeze. |
|
| 12 |
|
| Tunuulira buli muntu ow'amalala omukkakkanye; Olinnyirire ababi we bayimirira. |
|
| 13 |
|
| Bakise wamu mu nfuufu; Siba amaaso gaabwe mu kifo ekikisibwa. |
|
| 14 |
|
| Kale nange ne ndyoka nzikiriza ku ggwe Ng'omukono gwo gwe guyinza okukulokola. |
|
| 15 |
|
| Laba nno envubu gye nnatondera awamu naawe; Erya omuddo ng'ente. |
|
| 16 |
|
| Laba nno amaanyi gaayo gali mu kiwato kyayo, N'amawaggali gaayo gali mu binywa eby'omu lubuto lwayo. |
|
| 17 |
|
| Yeesagga omukira ng'omuvule: Ebinywa eby'omu kiwato kyayo byegatta wamu. |
|
| 18 |
|
| Amagumba gaayo galiŋŋanga enseke ez'ebikomo; Amagulu gaayo galiŋŋanga ebyuma ebisiba. |
|
| 19 |
|
| Ye ekulira amakubo ga Katonda: Ye yekka eyagitonda ayinza okugisembereza ekitala kye. |
|
| 20 |
|
| Mazima ensozi zigizaalira ebyokulya; Ensolo zonna ez'omu nsiko we zizannyira. |
|
| 21 |
|
| Egalamira wansi w'ebisiikirize by'emiti, Mu bwekwekero obw'omu ndago ne mu bitosi. |
|
| 22 |
|
| Ebisiikirize by'emiti bigibikkako; Emyerebu egy'omu bugga gigyetooloola. |
|
| 23 |
|
| Laba, omugga bwe gwanjaala, tekankana: Eguma omwoyo Yoludaani newakubadde nga gujjula ne gutuuka ku kamwa kaayo. |
|
| 24 |
|
| Waliwo anaagikwata bw'eba ng'etunula, Oba anaawummula ennyindo zaayo n'ekyambika? |
|
|
|
|