|
| 1 |
|
| Awo Mukama n’agamba Yobu nti, |
|
| 2 |
|
| “Oyo anoonya okuyombera ebitaliimu anaayombesa Ayinzabyonna? Oyo aleeta empaka ku Katonda, amuddemu.” |
|
| 3 |
|
| Awo Yobu n’addamu Mukama nti, |
|
| 4 |
|
| “Laba, sisaanidde, kiki kye nnaakuddamu? Emimwa kangibikkeko n’engalo. |
|
| 5 |
|
| Njogedde omulundi gumu, so siddemu; weewaawo emirundi ebiri sseeyongere mulundi mulala.” |
|
| 6 |
|
| Awo Mukama ng’ali mu muyaga ogw’amaanyi n’addamu Yobu nti, |
|
| 7 |
|
| “Weesibe engoye zo onywere ng’omusajja. Ka nkubuuze, naawe onziremu. |
|
| 8 |
|
| “Onojjulula ensala yange ey’emisango; ononsingisa omusango ggwe atuukiridde? |
|
| 9 |
|
| Olina omukono ng’ogwa Katonda, eddoboozi lyo lisobola okubwatuka ng’erirye? |
|
| 10 |
|
| Kale nno yambala ekitiibwa n’obukulu weesibe ekitiibwa n’okusukkuluma osukkulume. |
|
| 11 |
|
| Yolesa obusungu bw’ekiruyi kyo otunuulire buli wa malala omusse wansi. |
|
| 12 |
|
| Tunuulira buli musajja ow’amalala omukkakkanye era olinnyirire abakozi b’ebibi obabetentere we bali. |
|
| 13 |
|
| Bonna baziikire wamu mu nfuufu, emitwe gyabwe ogibikkire mu ntaana. |
|
| 14 |
|
| Nange kennyini ndyoke nzikirize, ng’omukono gwo ogwa ddyo, gusobola okukuwa amaanyi.” |
|
| 15 |
|
| “Laba ekisolo ekyefaananyiriza ng’envubu kye natonda nga ggwe, erya omuddo ng’ente, |
|
| 16 |
|
| nga kirina amaanyi mayitirivu mu kiwato kyakyo amaanyi mangi mu binywa by’olubuto lwakyo. |
|
| 17 |
|
| Kiwuuba omukira gwakyo ne guba ng’omukira gw’omuvule Ebinywa by’ebisambi byakyo byakwatagana nnyo. |
|
| 18 |
|
| Amagumba gaakyo gali ng’enseke ez’ebikomo; amagulu n’emikono ng’emitayimbwa. |
|
| 19 |
|
| Kibalibwa mu bitonde bya Katonda ebisooka, ate nga Katonda eyakitonda asobola okukisemberera n’ekitala kye. |
|
| 20 |
|
| Weewaawo ensozi zikireetera emmere, eyo ku nsozi, ensolo ez’omu nsiko zonna gye zizannyira. |
|
| 21 |
|
| Wansi w’ebisiikirize by’emiti egy’amaggwa, we kyebaka, ne kyekweka mu bitoogo ne mu bitosi. |
|
| 22 |
|
| Ebisiikirize by’emiti bikibikkako, emiti egiri ku mabbali g’omugga ne gikibikkako. |
|
| 23 |
|
| Laba omugga ne bwe gusiikuuka tekyekanga; kiba kinywevu, Yoludaani ne bwajjula n’abooga. |
|
| 24 |
|
| Eriyo omuntu yenna ayinza okukikwata, oba okuyuza ennyindo yaakyo n’akasaale?” |
|
|
|
|