|
| 1 |
|
| Oyinza okuggyangamu egoonya n'eddobo? Oba okunyigirizanga olulimi lwayo n'omugwa? |
|
| 2 |
|
| Oyinza okuyingizanga omugwa mu nnyindo zaayo? Oba okuwummulanga oluba lwayo n'eddobo? |
|
| 3 |
|
| Eneekwegayiriranga ebigambo bingi? Oba eneekugambanga ebigambo ebigonvu? |
|
| 4 |
|
| Eneeragaananga endagaano naawe, Ogitwalenga okuba omuddu emirembe gyonna? |
|
| 5 |
|
| Onoozannyanga nayo nga bw'ozannya n'ennyonyi? Oba onoogisibiranga abawala bo? |
|
| 6 |
|
| Ebibiina eby'abavubi binaagifuulanga obuguzi? Banaagigabaniranga mu basuubuzi? |
|
| 7 |
|
| Oyinza okujjuzanga eddiba lyayo ebyuma ebiriko amalobo, Oba omutwe gwayo emiwunda egiswaga ebyennyanja? |
|
| 8 |
|
| Giteekeko omukono gwo; Jjukira olutalo olemenga okweyongera okukola bw'otyo. |
|
| 9 |
|
| Laba, essuubi lyayo lya bwereere: Omuntu taakeŋŋentererwenga bw'agiraba obulabi? |
|
| 10 |
|
| Tewali mukambwe bw'atyo n'okwaŋŋanga n'ayaŋŋanga okugisaggula: Kale aluwa oyo ayinza okuyimirira mu maaso gange? |
|
| 11 |
|
| Ani eyasooka okumpa, nze mmusasule? Byonna ebiri wansi w'eggulu lyonna byange. |
|
| 12 |
|
| Siisirike olw'amagulu gaayo, Newakubadde amaanyi gaayo amangi, newakubadde okugattibwa kwayo okulungi. |
|
| 13 |
|
| Ani ayinza okugyambula ekyambalo kyayo eky'okungulu? Ani anaatuuka munda w'enkoba zaayo ebbiri? |
|
| 14 |
|
| Ani ayinza okuggulawo enzigi ez'amaaso gaayo? Entiisa yeetoolodde amannyo gaayo. |
|
| 15 |
|
| Amagamba gaayo ag'amaanyi ge malala gaayo, Nga gasibaganye ng'akabonero bwe kanyweza. |
|
| 16 |
|
| Erimu lyegatta n'ery'okubiri bwe lityo N'okuyinza empewo ne zitayinza kuyita wakati waago. |
|
| 17 |
|
| Geegasse gokka na gokka; Gakwatagana ne gatayinzika kwawulibwa. |
|
| 18 |
|
| Okwasimula kwayo kumyansaamu omusana, N'amaaso gaayo gafaanana ebikowe eby'enkya. |
|
| 19 |
|
| Mu kamwa kaayo muva emimuli egyaka, N'ensasi ez'omuliro zibuuka okuvaamu. |
|
| 20 |
|
| Mu nnyindo zaayo muva omukka, Ng'ogw'entamu etokota n'ogw'ebitoogo ebiggya. |
|
| 21 |
|
| Omukka gwayo gwasa amanda, Era omuliro guva mu kamwa kaayo. |
|
| 22 |
|
| Mu nsingo yaayo mubeera amaanyi, N'entiisa ezinira mu maaso gaayo. |
|
| 23 |
|
| Emiwula gy'ennyama yaayo gyegasse: Ginywerera ku yo: tegiyinza kusagaasagana. |
|
| 24 |
|
| Omutima gwayo guguma ng'ejjinja; Weewaawo, guguma ng'olubengo. |
|
| 25 |
|
| Bw'eyimuka ab'amaanyi batya: Olw'okwekanga nga baliko eddalu. |
|
| 26 |
|
| Bwe bagisimbako ekitala, tekiriiko kye kiyinza kukola; Newakubadde effumu newakubadde omuwunda newakubadde akasaale akasongovu. |
|
| 27 |
|
| Ebyuma ebiyita bisasiro, N'ebikomo miti mivundu. |
|
| 28 |
|
| Akasaale tekayinza kugiddusa: Amayinja agavuumuulibwa gafuuka ebiti eri yo. |
|
| 29 |
|
| Endoddo ziyitibwa ng'ebiti: Esekerera okuwulukuka kw'akasaale. |
|
| 30 |
|
| Ebitundu byayo ebya wansi biriŋŋanga engyo eziriko obwogi: Eteeka ng'eggaali ewuula ku bitosi. |
|
| 31 |
|
| Etokosa ennyanja ng'entamu: Efaananya ennyanja amafuta. |
|
| 32 |
|
| Emasamasisa ekkubo ennyuma waayo; Obuziba wandibulowoozezza okuba n'envi. |
|
| 33 |
|
| Tewali ekigyenkana ku nsi, Ekolebwa obutabaamu kutya. |
|
| 34 |
|
| Etunuulira buli kintu ekigulumivu: Ye kabaka w'abaana bonna ab'amalala. |
|
|
|
|