|
| 1 |
|
| “Goonya oyinza okugivubisa eddobo, oba okusiba olulimi lwayo n'omuguwa? |
|
| 2 |
|
| Oyinza okuyingiza omuguwa mu nnyindo zaayo, Oba okuwummula oluba lwayo n'eddobo? |
|
| 3 |
|
| Eneekwegayirira ogikwatirwe ekisa, n'eyogera naawe bulungi ogireke? |
|
| 4 |
|
| Eneekola naawe endagaano ebeerenga muweereza wo ennaku zonna? |
|
| 5 |
|
| Onoozannyanga nayo nga bw'ozannya n'ekinyonyi? Oba onoogisibiranga abaweereza bo abawala ebasanyuse? |
|
| 6 |
|
| Abavubi banaagiramuzanga? Abasuubuzi banaagitemaatemanga okugitunda? |
|
| 7 |
|
| Oyinza okugifumita effumu ne liyita mu ddiba lyayo? Oba omutwe gwayo n'ogufumita emiwunda egiswaga ebyennyanja? |
|
| 8 |
|
| Geza ogikooneko, tolikiddira lulala! Era olutalo tolirwerabira! |
|
| 9 |
|
| N'okugiraba obulabi omuntu taba na ssuubi. n'agwa ku ttaka wansi. |
|
| 10 |
|
| Tewali aba na buvumu bwa kusaggula goonya. Olwo kale aguma ye ani okuyimirira we ndi? |
|
| 11 |
|
| Ani yasooka okumpa gwe nnina okuddiza? Buli ekiri wansi w'eggulu kyange. |
|
| 12 |
|
| “Siireme kwogera ku magulu gaayo, ne ku maanyi gaayo, ne ku nkula yaayo ennungi. |
|
| 13 |
|
| Ani ayinza okugyambulamu ekyambalo kyayo ekyokungulu? Ani afumita n'ayita mu ddiba lyayo ery'embu ebbiri? |
|
| 14 |
|
| Ani ayinza okwasamya akamwa kaayo? Amannyo gaayo nga ga ntiisa! |
|
| 15 |
|
| Amagalagamba gaayo ag'amaanyi ge gagyewuliza. Gasibaganye ganywezeddwa akabonero ng'ak'envumbo. |
|
| 16 |
|
| Erimu liriraana linnaalyo, ne watasigala kaagaanya wadde n'empewo eyitemu. |
|
| 17 |
|
| Geegasse ne gakwatagana, tegayinza kwawulibwa. |
|
| 18 |
|
| Bw'ekuba emyasi, givaamu ekitangaala. Amaaso gaayo gamyuka nga njuba evaayo. |
|
| 19 |
|
| Akamwa kaayo kavaamu mimuli egyaka. Kabuukamu nsasi ez'omuliro. |
|
| 20 |
|
| Ennyindo yaayo evaamu omukka ng'oguva mu ntamu etokota, ne mu kisaalu ekyaka. |
|
| 21 |
|
| Omukka gw'essa gukuma amanda, ennimi ez'omuliro ne ziva mu kamwa kaayo. |
|
| 22 |
|
| Erimu amaanyi mu nsingo. Etiisa n'ekankanya buli agyaŋŋanga. |
|
| 23 |
|
| Enfunyiro z'ennyama yaayo zeekutte zigyerippyeko awatali kusagaasagana. |
|
| 24 |
|
| Omutima gwayo gwakula nga jjinja; ddala mugumu nga lubengo. |
|
| 25 |
|
| Bw'egira eti n'esituka, wadde balubaale batya! Beekanga ne babulwa eky'okukola. |
|
| 26 |
|
| Agisimbako ekitala, tagireetako kamogo. Effumu n'omuwunda wadde akasaale, bya bwereere! |
|
| 27 |
|
| Eby'ekyuma ebibala nga bisasiro; eby'ekikomo, miti gya mpumbu. |
|
| 28 |
|
| Toyinza kugigobesaawo kasaale. Amayinja g'envuumuulo gaba nga bisusunku ku yo. |
|
| 29 |
|
| Embuukuuli z'emiggo nazo ku yo bisusunku. Esekerera amafumu ge bakasuka okugifumita. |
|
| 30 |
|
| Amagalagamba g'oku lubuto lwayo gali ng'enzigyo ez'obwogi. Bwe yeekulula mu bitosi eba ng'ebiwuula eŋŋaano eby'ekyuma. |
|
| 31 |
|
| Bw'eyingira amazzi, esiikuula ennyanja n'eba ng'entamu etokota, era ng'akasaka omweserera omuzigo. |
|
| 32 |
|
| Amazzi mw'eyise, erekamu ekkubo ly'amayengo ameeru. N'erowoozesa n'oli, obuziba okuba n'envi. |
|
| 33 |
|
| Tewali kigyenkana ku nsi. Yatondebwa teriimu kutya. |
|
| 34 |
|
| Eziimuula buli kisolo ekyepansi; Ye kabaka w'ensolo zonna.” |
|
|
|
|