|
| 1 |
|
| “Oyinza okusikayo lukwata n’eddobo, oba okusiba olulimi lwayo n’omuguwa? |
|
| 2 |
|
| Oyinza okuyingiza omuguwa mu nnyindo zaayo, oba okuwummula oluba lwayo n’eddobo? |
|
| 3 |
|
| Eneekwegayirira ng’ekusaba nti, ogikwatirwe ekisa? Eneeyogera naawe mu bigambo ebigonvu? |
|
| 4 |
|
| Eneekola naawe endagaano ogitwale ekuweereze obulamu bwayo bwonna? |
|
| 5 |
|
| Onoozannya nayo nga bw’ozannya n’akanyonyi, oba okugisiba n’olukoba ng’agisibira bawala bo? |
|
| 6 |
|
| Abasuubuzi banaagiramuza, oba banaagibala ng’ekyamaguzi? |
|
| 7 |
|
| Oyinza okuvuba eddiba lyayo n’olijjuza amalobo, oba omutwe okugufumita n’amafumu agafumita ebyennyanja? |
|
| 8 |
|
| Bw’oligissaako engalo zo ekirivaamu tolikyerabira, toliddayo kukikola! |
|
| 9 |
|
| Essuubi lyonna ery’okugiwangula ffu, okugirabako obulabi kimalamu amaanyi. |
|
| 10 |
|
| Teri n’omu mukambwe nnyo asobola kugyaŋŋanga. Kale, ani oyo asobola okuyimirira mu maaso gange? |
|
| 11 |
|
| Ani alina kye yali ampoze musasule? Byonna ebiri wansi w’eggulu byange. |
|
| 12 |
|
| “Ku bikwata ku mikono n’ebigere byayo siisirike, amaanyi gaayo n’ekikula kyayo bya ssimbo. |
|
| 13 |
|
| Ani ayinza okugiggyako eddiba lyayo ery’oku ngulu? Ani ayinza okuyuza ekizibaawo kyayo eky’amaliba abiri? |
|
| 14 |
|
| Ani ayinza okuggula enzigi z’akamwa kaayo? Amannyo gaayo geetooloddwa entiisa. |
|
| 15 |
|
| Omugongo gwe gujjudde enkalala z’engabo ezisibiddwa okumukumu. |
|
| 16 |
|
| Zonna zisibaganye nga tewali mpewo weeyita. |
|
| 17 |
|
| Zakwatagana, ziri ku zinnaazo era tezisobola kwawulibwa. |
|
| 18 |
|
| Bw’eyasimula, ebimyanso bijja, n’amaaso gaayo gali nga enjuba ng’egwa. |
|
| 19 |
|
| Mu kamwa kaayo muvaamu ebiriro ebyaka. Kavaamu ensasi ez’omuliro. |
|
| 20 |
|
| Mu nnyindo zaayo muvaamu omukka ng’ogwentamu eyeesera eri ku muliro ogw’emmuli ezaaka. |
|
| 21 |
|
| Omukka oguva mu nnyindo zaayo gukoleeza Amanda. |
|
| 22 |
|
| Mu nsingo yaayo mulimu amaanyi, n’entiisa eri mu maaso gaayo. |
|
| 23 |
|
| Emiwula gy’ennyama yaayo gyegasse; gikutte nnyo era tegisobola kwenyeenya. |
|
| 24 |
|
| Ekifuba kyayo kigumu ng’olwazi, kigumu ng’olubengo. |
|
| 25 |
|
| Bwesituka ab’amaanyi batya. Badduka olw’okubwatuka kwayo. |
|
| 26 |
|
| Ekitala bwe kigituukako tekirina kye kiyinza kumukolako, oba ffumu, oba omuwunda wadde akasaale akasongovu. |
|
| 27 |
|
| Emenya ebyuma gy’obeera nti ekutulakutula bisasiro, ebyo ebikomo ebimenyaamenya ng’emiti emivundu. |
|
| 28 |
|
| Akasaale tekayinza kugiddusa, amayinja ag’envumuulo gaba nga biti gy’eri. |
|
| 29 |
|
| Embukuuli nayo eri ng’ebisusunku gy’eri. Esekerera amafumu agakasukibwa. |
|
| 30 |
|
| Amagalagamba g’oku lubuto lwayo gali ng’engyo z’ensuwa. Bwe yeekulula mu bitosi ebeera ng’ekyuma ekiwuula. |
|
| 31 |
|
| Ereetera obuziba bw’ennyanja okuba ng’entamu eyeesera. Ennyanja n’eba ng’entamu y’omuzigo ogufumbibwa. |
|
| 32 |
|
| Mu mazzi mw’eyise, erekamu ekkubo ery’amayengo ameeru; ne kireeta n’ekirowoozo nti obuziba bulina envi. |
|
| 33 |
|
| Tewali kigyenkana ku nsi; ekitonde ekitatya. |
|
| 34 |
|
| Enyooma buli kisolo. Ye kabaka w’abo bonna ab’amalala.” |
|
|
|
|