|
| 1 |
|
| Koowoola nno; waliwo anaakuyitaba? Era ani ku batukuvu gw'onookyukira? |
|
| 2 |
|
| Kubanga okweralirira kutta omusirusiru, Nobuggya butta atalina magezi. |
|
| 3 |
|
| Nalaba omusirusiru ng'asimba emmizi: Naye amangu ago ne nkolimira ekifo ky'abeeramu. |
|
| 4 |
|
| Abaana be baba wala n'emirembe, Era babetentebwa mu mulyango, So tewali wa kubawonya. |
|
| 5 |
|
| Omwaka gwabwe omuyala agulya, N'aguggya ne mu maggwa, N'omutego guwankirawankira ebintu byabwe. |
|
| 6 |
|
| Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nfuufu, So n'obuyinike tebuva mu ttaka; |
|
| 7 |
|
| Naye abantu bazaalirwa obuyinike, Ng'ensasi bwe zibuuka waggulu. |
|
| 8 |
|
| Naye nze, njagala okunoonya Katonda, Era njagala okulekera Katonda ensonga yange: |
|
| 9 |
|
| Akola ebikulu ebitanoonyezeka; Eby'ekitalo ebitabalika: |
|
| 10 |
|
| Atonnyesa enkuba ku nsi, N'asindika amazzi ku nnimiro: |
|
| 11 |
|
| Awo n'agulumiza abo abatoowazibwa; N'abo abali mu nnaku ne basitulibwa ne baba mirembe. |
|
| 12 |
|
| Atta enkwe ez'abagerengetanya, Emikono gyabwe ne gitayinza kutuukiriza bye batandise. |
|
| 13 |
|
| Akwasa abagezi olukwe lwabwe bo: N'okuteesa kw'ab'ekyejo kumenyekera ddala. |
|
| 14 |
|
| Baba n'ekizikiza emisana, Era bawammanta mu ttuntu nga kiro. |
|
| 15 |
|
| Naye alokola mu kitala eky'akamwa kaabwe, Alokola eyeetaaga mu mukono gw'ow'amaanyi. |
|
| 16 |
|
| Kale omwavu n'aba n'okusuubira, Obutali butuukirivu ne buziba akamwa kaabwo. |
|
| 17 |
|
| Laba aweereddwa mukisa omuntu Katonda gw'akangavvula: Kale tonyooma kubuulirira kw'Omuyinza w'ebitu byonna. |
|
| 18 |
|
| Kubanga ye alumya era ye anyiga; Ye afumita era engalo ze z'eziwonya. |
|
| 19 |
|
| Anaakuwonyanga mu buyinike omukaaga; Weewaawo, mu musanvu tewaabenga bubi obunaakukomangako. |
|
| 20 |
|
| Mu njala anaakununulanga obutafa; Ne mu ntalo anaakuwonyanga mu maanyi g'ekitala. |
|
| 21 |
|
| Onookwekebwanga awali okubambula kw'olulimi; So tootyenga kuzikirira bwe kunajjanga. |
|
| 22 |
|
| Onoosekereranga okuzikirira n'enjala; So tootyenga nsolo za ku nsi. |
|
| 23 |
|
| Kubanga onoolagaananga endagaano n'amayinja ag'omu ttale; N'ensolo ez'omu nsiko zinaabanga n'emirembe gy'oli. |
|
| 24 |
|
| Era onoomanyanga ng'eweema yo eri mirembe; Era onoolambulanga ekisibo kyo n'otobulwa kintu. |
|
| 25 |
|
| Era onoomanyanga ng'ezzadde lyo linaabanga kkulu. N'enda yo ng'omuddo ogw'ettale. |
|
| 26 |
|
| Olituuka mu ntaana yo ng'owezezza emyaka mmingi. Ng'ekinywa ky'eŋŋaano bwe kijja mu ntuuko zaakyo. |
|
| 27 |
|
| Laba, ekyo twakikenneenya, bwe kiri bwe kityo. Kiwulire okimanye olyoke obeere bulungi. |
|
|
|
|