|
| 1 |
|
| “Kaakano koowoola, anaakuyitaba ye ani? Onookyukira malayika ki nti: ‘Nnyamba?’ |
|
| 2 |
|
| Kubanga okweraliikirira kutta omusirusiru; N'okukwatibwa obuggya, kutta abatalina magezi. |
|
| 3 |
|
| Nalaba omusirusiru nga munywevu. Naye amangwago ne nkolimira ekifo mw'abeera. |
|
| 4 |
|
| Abaana be baba mu kabi, babetenterwa mu mulyango. Era tewaba abawonya. |
|
| 5 |
|
| By'akungula biriibwa abayala, ne baggyayo n'ebiri eyo mu maggwa. Obugagga bwe bwegombwa ababululunkanira. |
|
| 6 |
|
| Kubanga Obuyinike tebusibuka mu nfuufu. Ne mu ttaka, si mwe muva obunaku. |
|
| 7 |
|
| Naye abantu bazaalirwa kubonaabona, ng'ensasi z'omuliro bwe zimansukira mu bbanga. |
|
| 8 |
|
| “Naye nze ku bwange, nandyebuuzizza ku Katonda, Oyo gwe nandyanjulidde ensonga. |
|
| 9 |
|
| Ye akola ebikulu ebitategeerekeka, N'ebyamagero ebitabalika. |
|
| 10 |
|
| Atonnyesa enkuba ku nsi, N'afukirira ennimiro. |
|
| 11 |
|
| Abeetoowaza abagulumiza. Akubagiza abanaku, n'abatuusa ku ddembe. |
|
| 12 |
|
| Afumya enkwe z'abakalabakalaba; zikoma ne zigwa butaka. |
|
| 13 |
|
| Akwasa abagezi mu bugezigezi bwabwe. Era akomya mangu okuteesa kw'abalina enkwe. |
|
| 14 |
|
| Baba mu kizikiza emisana, ne bawammanta mu ttuntu ng'ekiro. |
|
| 15 |
|
| Naye Katonda awonya abanaku ekitala ky'akamwa k'abakambwe. Abali mu bwetaavu abawonya okunyigirizibwa ab'amaanyi. |
|
| 16 |
|
| Olwo abaavu ne baba n'essuubi, ababi ne bataddayo kunyega. |
|
| 17 |
|
| “Omuntu Katonda gw'agolola mazima aba wa mukisa. Kale tonyooma kukangavvulwa Muyinzawaabyonna. |
|
| 18 |
|
| Ye anyiga ebiwundu by'afumise. Engalo ze ezikuba, ze ziwonya. |
|
| 19 |
|
| Mu buli buyinike akuwonya, Bulijjo n'otobaako kabi. |
|
| 20 |
|
| Anaakuwonyanga okufa ng'enjala egudde. Mu lutalo n'akuwonya okuttibwa ekitala. |
|
| 21 |
|
| Anaakuwonyanga abakuwaayiriza. Tootyenga kuzikirira bwe kunajjanga. |
|
| 22 |
|
| Onoosekereranga enjala era n'okuzikirira, n'ensolo z'omu ttale n'otozitya. |
|
| 23 |
|
| Kubanga mu nnimiro yo temuubenga mayinja; n'ensolo z'omu ttale teziikulumbenga. |
|
| 24 |
|
| Oneekakasanga nti mu nnyumba yo oli mirembe; era ne wekkaanya nti ensolo z'omu ggana lyo tekuliiko ekubuze. |
|
| 25 |
|
| Era oneekakasanga nti bazzukulu bo ba kwala, n'ezzadde lyo liryeyongera obungi ng'omuddo ogw'oku ttale. |
|
| 26 |
|
| Olifa n'oteekebwa mu ntaana ng'omaze okuwangaala, ng'eŋŋaano gye bakungudde n'ereetebwa ewuulwe. |
|
| 27 |
|
| Ebyo twabinoonyereza, ne tulaba nga bya mazima. Biwulire obimanye, obiggyemu omugaso.” |
|
|
|
|