|
| 1 |
|
| “Koowoola, oba onoolabayo akwanukula. Mutuukirivu ani gy'onaddukira? |
|
| 2 |
|
| Kituufu, okunyiiga kutta omusiru, n'obuggya butta omubuyabuya. |
|
| 3 |
|
| Nze kennyini neerabirako ng'omusiru amerawo, naye amangu ago ennyumba ye nagivumirira. |
|
| 4 |
|
| Batabani be bali wala n'okuwonyezebwa; balirinnyirirwa mu mulyango, tewaliba abataasa. |
|
| 5 |
|
| Abayala bamuliira amakungula ge, bennyini baganoga okuva mu maggwa; abayonta balookeralookera obugagga bwe. |
|
| 6 |
|
| Kubanga obutaba mutuufu tekiva mu nfuufu, n'obwonoonefu tebuva mu ttaka. |
|
| 7 |
|
| Wabula omuntu azaalibwa kutawaanya, kyenkana ng'ensasi z'omuliro bwe zambuka waggulu. |
|
| 8 |
|
| “Singa mbadde ggwe, nandijulidde ewa Katonda, ewa Katonda gye nandiyanjudde ensonga zange. |
|
| 9 |
|
| Akola ebinene ebiteefumiitirizika, n'ebyewuunyisa ebitabalika. |
|
| 10 |
|
| Awa enkuba mu nsi, n'asindika amazzi ku ngulu ku ttale. |
|
| 11 |
|
| Abatene abambusa waggulu, abadaagana n'abalinnyisa awali obulokofu. |
|
| 12 |
|
| Agootaanya entegeka z'abakupya, emikono gyabwe gireme kubaako kye gituukiriza. |
|
| 13 |
|
| Akwatira abagezi mu bukujjukujju bwabwe, obukodyo bw'abakabakaba n'abusukkiza wansi. |
|
| 14 |
|
| Ekizikiza bakisisinkana misana, mu ttuntu bawammanta ng'ekiro. |
|
| 15 |
|
| Abaavu abawonya ekitala ky'omu kamwa kaabwe, abawonya mu mikono gy'ab'amaanyi. |
|
| 16 |
|
| Abanaku bafuna essuubi, obwonoonefu ne buggala akamwa kaabwo. |
|
| 17 |
|
| “Omuntu oyo yeesiimye Katonda gw'akomako; togayanga kugolola kwa Muyinza wa buli kantu. |
|
| 18 |
|
| Kubanga afumita, naye era asiba ekiwundu; aleeta obuvune, naye era emikono gye gye giwonya. |
|
| 19 |
|
| Alikuwonya mu bubenje mukaaga, mu bubenje musanvu akabi tekalikutuukako: |
|
| 20 |
|
| Mu njala alikuwanulayo mu kufa, ne mu lutalo alikuwonya amaanyi g'ekitala. |
|
| 21 |
|
| Oliwonyezebwa obuswanyu bw'olulimi, okwaya bwe kulijja, tolitya. |
|
| 22 |
|
| Olisekerera okwaya n'enjala, tolitya na bisolo bya mu nsiko. |
|
| 23 |
|
| Olikuba endagaano n'amayinja mu nnimiro, n'ebisolo mu nsiko biriba mu ddembe naawe. |
|
| 24 |
|
| Olimanya nti weema yo eri mu ddembe; bw'olibala eby'omu kisulo kyo, tolisanga kibulamu. |
|
| 25 |
|
| Olimanya nti ezzadde lyo liriba ddene, ne bazzukulu bo bangi ng'omuddo gw'oku ttaka. |
|
| 26 |
|
| Oliyingira entaana ng'okyewulira amaanyi go gonna, ng'entuumu z'eŋŋano ezikuŋŋaanyizibwa mu budde bwayo. |
|
| 27 |
|
| “Kino tukyekkaanyizza, era kituufu; kiwulire okitwale.” |
|
|
|
|