|
| 1 |
|
| “Koowoola kaakano, waliwo anaakuyitaba? Era ani ku batukuvu gw’onoolaajaanira? |
|
| 2 |
|
| Obukyayi butta atalina magezi, n’obuggya butta omusirusiru. |
|
| 3 |
|
| Ndabye abasirusiru nga banywevu, naye mangu ddala ne nkolimira ekifo kye batuulamu. |
|
| 4 |
|
| Abaana baabwe tebalina bukuumi, babetenterwa mu luggya nga tewali abawolereza. |
|
| 5 |
|
| Omuyala alya amakungula gaabwe era atwala n’ag’omu maggwa era awankirawankira eby’obugagga byabwe. |
|
| 6 |
|
| Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nsi, wadde obuzibu okuva mu ttaka, |
|
| 7 |
|
| wabula abantu bazaalibwa kulaba nnaku, ng’ensasi bwe zibuuka waggulu. |
|
| 8 |
|
| Naye nze, nzija kunoonya Katonda era mmulekere ensonga zange. |
|
| 9 |
|
| Akola ebikulu, ebitanoonyezeka, ebyewuunyisa ebitabalika. |
|
| 10 |
|
| Atonnyesa enkuba ku nsi, n’aweereza amazzi mu byalo. |
|
| 11 |
|
| Ayimusa abo abanyigirizibwa n’abo abakaaba ne basitulibwa mu mirembe. |
|
| 12 |
|
| Aziyiza enkwe z’ababi, emikono gyabwe gireme okutuukiriza bye bateesa. |
|
| 13 |
|
| Agwikiririza abagezigezi mu bukujjukujju bwabwe, n’enkwe zaabwe n’aziziyiriza ddala. |
|
| 14 |
|
| Ekizikiza kibabuutikira emisana, ne bawammanta mu ttuntu ng’ekiro. |
|
| 15 |
|
| Naye aggya abali mu bwetaavu mu mukono gw’abo ab’amaanyi, n’abawonya ekitala kyabwe. |
|
| 16 |
|
| Abaavu ne balyoka baba n’essuubi, n’akamwa k’abatali benkanya ne kazibibwa. |
|
| 17 |
|
| “Alina omukisa omuntu Katonda gw’abuulirira; noolwekyo tonyooma kukangavvula kw’oyo Ayinzabyonna. |
|
| 18 |
|
| Kubanga ye y’afumita ate era y’anyiga, y’alumya era y’awonya. |
|
| 19 |
|
| Alikuwonya mu buzibu bwa ngeri mukaaga. Weewaawo ne mu ngeri musanvu tootuukibwengako kulumizibwa. |
|
| 20 |
|
| Mu njala alikuwonya okufa, era anaakuwonyanga mu lutalo olw’ekitala. |
|
| 21 |
|
| Onookuumibwanga eri olulimi olukambwe, era tootyenga okuzikirira bwe kunaabanga kujja gy’oli. |
|
| 22 |
|
| Oliseka ng’okuzikirira n’enjala bizze, era tootyenga nsolo nkambwe ez’oku nsi. |
|
| 23 |
|
| Onoobanga n’enkolagana n’amayinja ag’omu nnimiro, era onoobanga n’emirembe awali ensolo enkambwe. |
|
| 24 |
|
| Olimanya nti, ensiisira yo eri mirembe; era eby’obugagga byo olibibala n’olaba nga tewali kibuzeeko. |
|
| 25 |
|
| Olimanya ng’ezzadde lyo liriba ddene, ne bazzukulu bo baliba bangi ng’omuddo ogw’oku nsi. |
|
| 26 |
|
| Olituusibwa ku ntaana yo nga wakaddiyira ddala, ng’eŋŋaano bwe tuukira mu kiseera kyayo. |
|
| 27 |
|
| “Ekyo twakyekenneenya, kituufu. Kimanye nga kikwata ku ggwe.” |
|
|
|
|