|
| 1 |
|
| “Koowoola nno, ani anaakuyitaba? Era ani ku batukuvu gw'onookyukira akuyambe? |
|
| 2 |
|
| Kubanga okweraliikirira kutta omusirusiru, N'obuggya butta atalina magezi. |
|
| 3 |
|
| Nnalaba omusirusiru nga ye nyweza, Naye amangu ago ne nkolimira ekifo ky'abeeramu. |
|
| 4 |
|
| Abaana be baba wala n'emirembe, Era babetentebwa mu mulyango, Era tewaba abawonya. |
|
| 5 |
|
| Abayala balya byakungula, Baggyayo ne biri eyo mu maggwa, Ab'omululu beegomba obugagga bwe. |
|
| 6 |
|
| Kubanga obuyinike tebuva mu nfuufu, Ne nnaku teva mu ttaka; |
|
| 7 |
|
| Naye abantu bazaalirwa kulaba obuyinike, Ng'ensasi bwe zimansukira mu bbanga. |
|
| 8 |
|
| Singa nze ggwe, nnandinoonyeza Katonda, Era oyo gwe nandyanjulidde ensonga yange: |
|
| 9 |
|
| Akola ebikulu ebitategeerekeka, N'eby'amagero ebitabalika: |
|
| 10 |
|
| Atonnyesa enkuba ku nsi, N'afukirira amazzi ku nnimiro: |
|
| 11 |
|
| Agulumiza abeetoowaza, N'abo abakungubaga n'abawa essanyu. |
|
| 12 |
|
| Affaffaganya enkwe ez'abakalabakalaba; Ne batayinza kutuukiriza bye bategeka. |
|
| 13 |
|
| Akwasa abagezi mu bugezigezi bwabwe. Era akomya mangu okuteesa kwa b'enkwe. |
|
| 14 |
|
| Baba n'ekizikiza emisana, Era bawammanta mu ttuntu nga kiro. |
|
| 15 |
|
| Katonda awonya abanaku okuttibwa, Alokola abali mu bwetaavu okuva mukunyigirizibwa ab'amaanyi. |
|
| 16 |
|
| Olwo abaavu ne baba n'essuubi, Ababi ne babunira. |
|
| 17 |
|
| Laba, aweereddwa omukisa omuntu Katonda gw'akangavvula: Kale tonyooma kukangavvulwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna. |
|
| 18 |
|
| Kubanga ye alumya, era ye anyiga; Ye afumita era engalo ze ze ziwonya. |
|
| 19 |
|
| Anaakuwonyanga mu buyinike omukaaga; Weewaawo, ku gw'omusanvu tewaabenga bubi obunaakukomangako. |
|
| 20 |
|
| Mu njala anaakuwonyanga okufa. Ne mu ntalo anaakuwonyanga okuttibwa ekitala. |
|
| 21 |
|
| Anaakuwonyanga abakuwaayiriza. Era tootyenga kuzikirira bwe kunajjanga. |
|
| 22 |
|
| Onoosekereranga okuzikirira n'enjala; Era tootyenga nsolo z'omu ttale. |
|
| 23 |
|
| Kubanga mu nnimiro yo temuubeenga mayinja; N'ensolo ez'omu nsiko teziikulumbenga. |
|
| 24 |
|
| Oneekakasanga nti mu nnyumba oli mirembe; Era onoolambulanga ekisibo kyo nga tekuliiko ebuze. |
|
| 25 |
|
| Era onoomanyanga ng'ezzadde lyo lya kwala. Lyeyongere ng'omuddo ogw'oku ttale. |
|
| 26 |
|
| Olituuka mu ntaana yo ng'owangadde emyaka mmingi. Ng'ekinywa ky'eŋŋaano bwe kireetebwa okuwuulwa. |
|
| 27 |
|
| Ebyo twabyekenneenya, ne tulaba nga bya mazima. Biwulire, obimanye olyoke obeere bulungi.” |
|
|
|
|