|
| 1 |
|
| Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti |
|
| 2 |
|
| Singa okweraliikirira kwange kupimiddwa, N'ennaku zange singa ziteekeddwa mu minzaani wamu! |
|
| 3 |
|
| Kubanga kaakano zandisinze obuzito omusenyu ogw'ennyanja: Ebigambo byange kye bivudde bibeera eby'okwanguyiriza. |
|
| 4 |
|
| Kubanga obusaale bw'Omuyinza w'ebintu byonna buli munda yange, N'obusagwa bwabwo omwoyo gwange gubunywa: Eby'entiisa ebya Katonda bisimba ennyiriri okulwana nange. |
|
| 5 |
|
| Entulege ekaaba bw'eba n'omuddo? Oba ente eŋooŋa awali emmere yaayo? |
|
| 6 |
|
| Ekitaliimu nsa kiriika awatali munnyo? Oba olububi lw'eggi luliko bwe luwooma? |
|
| 7 |
|
| Emmeeme yange egaana okubikomako; Biriŋŋanga ebyokulya eby'omuzizo gye ndi. |
|
| 8 |
|
| Singa nnyinza okuweebwa kye nsaba; Katonda singa ampadde kye nneegomba ! |
|
| 9 |
|
| Katonda singa asiimye okumbetenta; Singa ayanjuluzza engalo ze n'ammalawo! |
|
| 10 |
|
| Kale bwe nnandibadde n'okusanyusibwa nga mmaze Weewaawo, nandijaguzizza olw'okulumwa awatali kusaasirwa: Kubanga sigaananga bigambo bya Mutukuvu. |
|
| 11 |
|
| Amaanyi gange kye ki, nnindirire? N'enkomerero yange kye ki, ngumiikirize? |
|
| 12 |
|
| Amaanyi gange maanyi ga mayinja? Oba omubiri gwange gwa kikomo? |
|
| 13 |
|
| Si kubanga sirina kinnyamba mu nze? N'okukola okw'amaanyi kugobeddwa ddala gye ndi? |
|
| 14 |
|
| Ayagala okuzirika agwana mukwano gwe okumukola eby'ekisa; Era n'oyo aleka okutya Omuyinza w'ebintu byonna. |
|
| 15 |
|
| Baganda bange balimbyerimbye ng'akagga, Ng'olusalosalo lw'obugga oluggwaawo: |
|
| 16 |
|
| Obuddugala olw'amazzi agakutte, Era omuzira mwe gwekweka: |
|
| 17 |
|
| Buli lwe bubuguma, ne bubula: Ebbugumu bwe libaawo, bumalibwawo okuva mu kifo kyabwo. |
|
| 18 |
|
| Essafaali ezitambula ku mabbali gaabwo ne zikyama; Bambuka mu ddungu ne bazikirira. |
|
| 19 |
|
| Essafaali z'e Tema zaatunula, Ebibiina eby'e Seeba byabulindirira. |
|
| 20 |
|
| Baakwatibwa ensonyi kubanga baasuubira; Bajja eyo ne baswazibwa. |
|
| 21 |
|
| Kubanga kaakano temuliiko kye muli; Mulaba ekitiisa ne mutya. |
|
| 22 |
|
| Nali mbagambye nti Mpa? Oba nti Muweeyo ku bintu byammwe ekirabo ku lwange? |
|
| 23 |
|
| Oba nti Mumponye mu mukono gw'omulabe? Oba nti Munnunule mu mukono gw'abajoozi? |
|
| 24 |
|
| Munjigirize nange naasirika: Era muntegeeze bwe kiri kye nnasobya. |
|
| 25 |
|
| Ebigambo eby'obugolokofu nga bya maanyi! Naye okuwakana kwammwe kunenya ki? |
|
| 26 |
|
| Mulowooza okunenya ebigambo? Kubanga okwogera kw'oyo atalina ssuubi biriŋŋanga empewo. |
|
| 27 |
|
| Weewaawo, mwandikubidde obululu atalina kitaawe, Ne mukwano gwammwe mwandimuviisizzaamu amagoba. |
|
| 28 |
|
| Kale nno mukkirize okuntunuulira; Kubanga mazima sijja kulimba mu maaso gammwe. |
|
| 29 |
|
| Muddeeyo, mbeegayiridde, waleme okubaawo ebitali bya nsonga; Weewaawo, muddeeyo nate, ensonga yange nnungi. |
|
| 30 |
|
| Ku lulimi lwange kuliko ebitali bya nsonga? Amatama gange tegayinza kwawula bigambo ebireeta akabi? |
|
|
|
|