×

Luganda Bible 2003

Yobu 6

1
Yobu n'ayanukula n'agamba nti:
2
“Singa bapima okweraliikirira kwange, n'ennaku yange n'essibwa ku minzaani,
3
Omusenyu gw'ennyanja byandigukize obuzito. Bye njogedde n'olwekyo namaze gabyanguyira.
4
Kubanga obusaale bw'Omuyinzawaabyonna bunnyingidde mu mubiri. Obusagwa bwabwo bumbunye. Katonda by'alina eby'entiisa yabiggyayo bisimbe ennyiriri okunzigulako olutalo.
5
“Entulege ekaaba bw'eba n'omuddo? Oba ente ye eŋooŋa awali emmere yaayo?
6
Ekitaliimu nsa kiriika nga tokirunzeemu munnyo? Omuntu afuna ssanyu ki mu kulya ekitawooma?
7
Saagala mbiryeko ebyo, ku nze kumpi gwe muziro.
8
“Singa nfuna kye nsaba, Katonda n'ampa kye neegomba:
9
Katonda asiime ambetente nze. Ankube anzite nveewo!
10
Ekyo kyandinkubagizza, olwo nandibadde njaganya, Nga sisaasirwa olw'okulumwa. Kubanga sigaananga Omutukuvu by'alagira.
11
Amaanyi ge nnina galuwa nnyongere okuba omulamu? Ye obulamu bungasa ki obutalina ssuubi?
12
Ndi mugumu nga mayinja? N'omubiri gwange gwa kikomo?
13
Nkyalina ageeyamba, Nze atakyalina kye nsobola?
14
“Aterebuse agwana okuyambibwa banne, Ne bw'aba yeegaanye Omuyinzawaabyonna.
15
Baganda bange balimba ng'akagga akateesigwa. Bali ng'obugga obulabibwamu amazzi, ate oluvannyuma ne bukalira;
16
Obuddugazibwa amazzi agakutte, era obwekwekebwamu omuzira.
17
Olubuguma ne bukalira. Omusana olwakako, tobulabako.
18
Abatambuze bakyama nga babunoonya. Batambulatambula mu ddungu ne bazikirira.
19
Abatambuze b'e Tema baabutunuulira. N'abatambuze b'e Seeba baabulinamu essuubi.
20
Baaswala, kubanga baabwesigira bwereere. Bwe baabutuukako ne basoberwa.
21
Nammwe bwe mutyo bwe munfuukidde: Kubanga mulaba ndi mu kabi ne mutya.
22
Mbagambye nti: ‘Mumpe ekirabo?’ Oba nti ‘Mutoole ku byammwe muweeyo enguzi ku lwange?’
23
Oba nti: ‘Mumponye omulabe?’ Oba nti: ‘Munzigye mu mikono gy'abannyigiriza?’
24
“Ka nsirike mumpabule; Muntegeeze kye nasobya.
25
Ebigambo ebituufu bimatiza. Naye empaka zammwe zingasa ki?
26
Mwagala okunnenya olw'ebigambo ebiri ng'empewo bye njogedde nga sirina ssuubi?
27
Mwandikubidde ne mulekwa akalulu okumufuula omuddu? Mwandiramuzizza ne munnammwe mumufunemu amagoba?
28
Kale kaakano muntunuulire, kubanga siibalimbe nga mulaba.
29
Mbasaba muddemu mwerowooze muleme kunsibako kibi. Muddemu mwerowooze, ensonga zange ntuufu.
30
Nnina ekikyamu kye njogedde? Siyinza kwawula kirungi na kibi?
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes