|
| 1 |
|
| Yobu n’ayanukula ng’agamba nti, |
|
| 2 |
|
| “Singa okweraliikirira kwange, n’okubonaabona kwange bipimibwa ne biteekebwa ku minzaani! |
|
| 3 |
|
| Weewaawo byandisinze omusenyu gw’ennyanja okuzitowa; ebigambo byange kyenvudde mbyanguyiriza. |
|
| 4 |
|
| Obusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze n’omwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo: entiisa ya Katonda erwana nange. |
|
| 5 |
|
| Entulege ekaaba awali omuddo, oba ente ennume eŋŋooŋŋa awali emmere yaayo? |
|
| 6 |
|
| Emmere etaliimu nsa eriika omutali munnyo, oba amazzi g’eggi okubaamu akawoomerera? |
|
| 7 |
|
| Omutima gwange tegusikirizibwa kubikombako, biri ng’emmere etangasa. |
|
| 8 |
|
| “Singa Katonda ampa kye nsaba, n’ampa kye nsuubira, |
|
| 9 |
|
| yandisiimye okumbetenta ne mmalibwawo omukono gwe. |
|
| 10 |
|
| Kino kyandikkakkanyizza obulumi obutakoma kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu. |
|
| 11 |
|
| Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe n’essuubi? Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize? |
|
| 12 |
|
| Amaanyi gange ga mayinja oba omubiri gwange gwa kikomo? |
|
| 13 |
|
| Mu mazima sirina maanyi n’obusobozi bwanzigwako. |
|
| 14 |
|
| Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe tafaayo kutya Ayinzabyonna. |
|
| 15 |
|
| Baganda bange tebeesigika, bali ng’akagga akabooga ate ne kakalira, |
|
| 16 |
|
| akaddugalirira buli lwe kakwata, ng’omuzira, |
|
| 17 |
|
| ate ne kaggwaawo buli lwe wabaawo ebbugumu. |
|
| 18 |
|
| Ebibinja by’abatambuze we biviira ku mugendo ne biraga mu ddungu ne bizikirira. |
|
| 19 |
|
| Abatambuze b’e Teema banoonya, bo ab’e Seeba ne balindirira n’essuubi. |
|
| 20 |
|
| Baalina essuubi naye bwe baatuukayo ne banyolwa nnyo. |
|
| 21 |
|
| Kaakano bwe mundabye ne mutya ne mukakasizza ddala nga temuliiko kye muyinza kukola. |
|
| 22 |
|
| Nnali mbagambye nti, ‘Mumpe ekirabo,’ oba nti, ‘Mumpeereyo ekintu ku by’obugagga bwammwe, |
|
| 23 |
|
| okumponya nve mu mukono gw’omulabe, n’okumpeerayo ekintu mpone emitego gy’abakambwe’? |
|
| 24 |
|
| “Njigiriza nange n’aba musirise; ndaga we nsobezza. |
|
| 25 |
|
| Ebigambo eby’amazima nga bya bulumi! Naye okuwakana kwammwe kukakasa ki? |
|
| 26 |
|
| Mugezaako okugolola ebigambo byange, ne mufuula ebigambo by’omuntu ali obubi okuba ng’empewo? |
|
| 27 |
|
| Mukubira ne bamulekwa akalulu ate ne mukubira ne mukwano gwammwe. |
|
| 28 |
|
| “Naye kaakano mubeere ba kisa muntunuulire. Ndabika ng’omulimba? |
|
| 29 |
|
| Mufumiitirize, temusuula bwenkanya; Mukirowoozeeko, kubanga obujulirwa bwange buli ku kalebwerebwe. |
|
| 30 |
|
| Emimwa gyange girabika ng’egirimba? Emimwa gyange tegisobola kutegeera ttima?” |
|
|
|
|