|
| 1 |
|
| Yobu n'ayanukula n'agamba nti, |
|
| 2 |
|
| “Singa okweraliikirira kwange kupimiddwa, N'ennaku yange n'eteekebwa ku minzaani wamu, |
|
| 3 |
|
| Zandisinze obuzito omusenyu ogw'ennyanja, Ebigambo byange kye kyenvudde mbyanguyiriza. |
|
| 4 |
|
| Kubanga obusaale bw'Omuyinza w'ebintu byonna bunnyingidde mu mubiri. N'obusagwa bwabwo bumbunye. Eby'entiisa ebya Katonda bisimba ennyiriri okulwana nange. |
|
| 5 |
|
| Entulege ekaaba bw'eba n'omuddo? Oba ente eŋooŋa awali emmere yaayo? |
|
| 6 |
|
| Ekitaliimu nsa kiriika nga tokirunzeemu munnyo? Oba olububi lw'eggi luliko bwe luwooma? |
|
| 7 |
|
| Emmeeme yange teyagala ku biryako, Biriŋŋaanga eby'okulya eby'omuzizo gye ndi. |
|
| 8 |
|
| Singa nnyinza okuweebwa kye nsaba; Katonda singa ampadde kye nneegomba! |
|
| 9 |
|
| Katonda singa asiimye okumbetenta; Singa ayanjuluzza engalo ze n'ammalawo! |
|
| 10 |
|
| Ekyo kyandinkubagiza, Olwo nandijaganyizza, olw'okulumwa awatali kusaasirwa: Kubanga sigaananga bigambo bya Mutukuvu. |
|
| 11 |
|
| Amaanyi ge nnina galuwa nnyongere okuba omulamu? Ye obulamu bungasa ki obutalina ssuubi? |
|
| 12 |
|
| Ndi mugumu nga mayinja? Oba omubiri gwange gwa kikomo? |
|
| 13 |
|
| Sikyalina maanyi mu nze. Sikyalina kye nsobola okukola. |
|
| 14 |
|
| Ali mu buzibu yeetaaga mikwano gye okumukola eby'ekisa, Ne bw'aba alese Omuyinza w'ebintu byonna. |
|
| 15 |
|
| Baganda bange mu nnimbye ng'akagga akateesigwa. Ng'obugga obukalirakalira. |
|
| 16 |
|
| Obuddugala olw'amazzi agakutte, Era omuzira mwe gwekweka: |
|
| 17 |
|
| Buli lwe bubuguma, nga bukalira, Omusana olwakako, tobulabako. |
|
| 18 |
|
| Abatambuze bakyama nga babunoonya. Batambulatambula mu ddungu ne bazikirira. |
|
| 19 |
|
| Abatambuze b'e Tema baabutunuulira. N'abatambuze b'e Seeba baabulinamu essuubi. |
|
| 20 |
|
| Baaswala kubanga baabwesigira bwereere. Bwe baabutuukako ne basoberwa. |
|
| 21 |
|
| Nammwe bwe mutyo bwe munfukidde: Mulaba ndi mu buzibu, ne mutya. |
|
| 22 |
|
| Mbagambye nti mumpe ekirabo? Oba nti Mutoole ku byammwe muweeyo enguzi ku lwange? |
|
| 23 |
|
| Oba nti Mumponye mu mukono gw'omulabe? Oba nti Munnunule mu mukono gw'abajoozi? |
|
| 24 |
|
| Kansirike, mumpabule; Muntegeeze kye nnasobya. |
|
| 25 |
|
| Ebigambo ebituufu bimatiza. Naye empaka zammwe zigasa ki? |
|
| 26 |
|
| Mulowooza bye njogera tebiriimu nsa, Era njogedde nga sirina ssuubi? |
|
| 27 |
|
| Mwandikubidde ne mulekwa akalulu okumufuula omuddu, Ne mukwano gwammwe mwandimuviisizzaamu amagoba. |
|
| 28 |
|
| Kale nno mukkirize okuntunuulira; Kubanga mazima sijja kulimba mu maaso gammwe. |
|
| 29 |
|
| Muddemu mwerowooze temunsibako kibi. Mbeegayiridde mwerowooze nate, ensonga yange ntuufu. |
|
| 30 |
|
| Waliwo ekitali kituufu kye njogedde? Siyinza kwawula kirungi na kibi?” |
|
|
|
|