|
| 1 |
|
| Abantu tebalina lutalo ku nsi? N'ennaku zaabwe tezifaanana nnaku z'oyo akolera empeera? |
|
| 2 |
|
| Ng'omuddu ayaayaanira ennyo ekisiikirize, Era ng'oyo akolera empeera bw'asuubira empeera ye: |
|
| 3 |
|
| Bwe ntyo nange bwe mmazibwa emyezi egitaliiko kye gigasa, N'ebiseera eby'ekiro ebinkooya byanteekerwawo. |
|
| 4 |
|
| Bwe ngalamira ne njogera nti Naayimuka ddi? naye ekiro kirwawo; Era nsula nneekubiira okukeesa obudde. |
|
| 5 |
|
| Omubiri gwange gwambadde envunyu n'amafunfugu; Eddiba lyange liziba ne litulika nate. |
|
| 6 |
|
| Ennaku zange ziwulukuka mangu okusinga obutanta bw'omulusi w'engoye, Era ziggwaawo awatali ssuubi. |
|
| 7 |
|
| Woowe, jjukira ng'obulamu bwange mpewo: Amaaso gange tegakyalaba nate birungi. |
|
| 8 |
|
| Eriiso ly'oyo andaba terikyandaba nate: Amaaso go galiba ku nze, naye nga siriiwo. |
|
| 9 |
|
| Ekire nga bwe kiggwaawo ne kibula, Bw'atyo n'oyo akka mu magombe taalinnyenga kuvaayo. |
|
| 10 |
|
| Taddenga nate mu nnyumba ye, So n'ekifo kye tekiimumanyenga nate. |
|
| 11 |
|
| Kyennaava nnema okuziyiza akamwa kange; Naayogeza obubalagaze bw'omwoyo gwange; Neemulugunyisa obuyinike bw'emmeeme yange. |
|
| 12 |
|
| Nze nnyanja, oba lukwata, N'okussaako n'onzisaako abankuuma? |
|
| 13 |
|
| Bwe njogera nti Ekitanda kyange kinansanyusa, Ekiriri kyange kinaawummuza okwemulugunya kwange; |
|
| 14 |
|
| Kale n'olyoka ontiisa n'ebirooto, N'onkanga n'okwolesebwa: |
|
| 15 |
|
| Emmeeme yange n'okweroboza ne yeeroboza okutugibwa, N'okufa okusinga amagumba gange gano. |
|
| 16 |
|
| Ntamiddwa obulamu bwange; saagala kuba mulamu ennaku zonna: Ndeka; kubanga ennaku zange teziriimu. |
|
| 17 |
|
| Omuntu kye kiki, ggwe okumukuza, Era ggwe okumussaako omwoyo gwo. |
|
| 18 |
|
| N'okumujjira buli nkya, N'okumukema buli kaseera? |
|
| 19 |
|
| Olituusa wa obutanziyangako maaso, N'obutandekanga okumala okumira amalusu gange? |
|
| 20 |
|
| Oba nga nnyonoonye, nkukola ki ggwe, ggwe alabirira abantu? Kiki ekyakunteesaawo okuba sabbaawa gy'oli, N'okuzitowa ne nneezitoowerera nze nzekka? |
|
| 21 |
|
| Era kiki ekikulobera okusonyiwa okusobya kwange n'okuggyawo obutali butuukirivu bwange? Kubanga kaakano naagalamira mu nfuufu; Naawe olinnoonyeza ddala, naye nze nga siriiwo. |
|
|
|
|