|
| 1 |
|
| “Ebiseera by’omuntu ku nsi, tebyagerebwa? Ennaku ze tezaagerebwa nga ez’omupakasi? |
|
| 2 |
|
| Ng’omuddu eyeegomba ekisiikirize okujja, ng’omupakasi bwe yeesunga empeera ye; |
|
| 3 |
|
| bwe ntyo bwe nnaweebwa emyezi egy’okubonaabona, ebiro ebyokutegana bwe byangererwa. |
|
| 4 |
|
| Bwe ngalamira neebake, njogera nti, ‘Ndiyimuka ddi, ekiro kinaakoma ddi?’ Nga nzijudde okukulungutana okutuusa obudde lwe bukya. |
|
| 5 |
|
| Omubiri gwange gujjudde envunyu n’ebikakampa, n’olususu lwange lukutusekutuse era lulabika bubi. |
|
| 6 |
|
| “Ennaku zange zidduka okusinga ekyuma ky’omulusi w’engoye bw’atambuza ky’alusisa engoye ze; era zikoma awatali ssuubi. |
|
| 7 |
|
| Ojjukira Ayi Katonda, nti obulamu bwange tebuliimu, wabula mukka bukka, amaaso gange tegaliddayo kulaba bulungi. |
|
| 8 |
|
| Eriiso ly’oyo eryali lindabyeko teririddayo kundaba; amaaso gammwe galinnoonya, naye nga sikyaliwo. |
|
| 9 |
|
| Nga ekire bwe kibulawo ne kigenda, bw’atyo n’aziikwa mu ntaana talivaayo. |
|
| 10 |
|
| Taliddayo mu nnyumba ye, amaka ge tegaliddayo kumumanya nate. |
|
| 11 |
|
| Noolwekyo sijja kuziyiza kamwa kange, nzija kwogera okulumwa kw’omutima gwange; nzija kwemulugunyiza mu bulumi bw’emmeeme yange. |
|
| 12 |
|
| Ndi nnyanja oba ndi lukwata ow’omu buziba, olyoke onkuume? |
|
| 13 |
|
| Bwe ndowooza nti, obuliri bwange bunampa ku mirembe, ekiriri kyange kinakendeeza ku kulumwa kwange; |
|
| 14 |
|
| n’olyoka ontiisa n’ebirooto era n’onkanga okuyita mu kwolesebwa. |
|
| 15 |
|
| Emmeeme yange ne yeegomba okwetuga, nfe okusinga okuba omulamu. |
|
| 16 |
|
| Sikyeyagala, neetamiddwa. Sijja kubeera mulamu emirembe gyonna. Ndeka; kubanga ennaku zange butaliimu. |
|
| 17 |
|
| Omuntu kye ki ggwe okumugulumiza, n’omulowoozaako? |
|
| 18 |
|
| Bw’otyo n’omwekebejja buli makya, n’omugezesa buli kaseera? |
|
| 19 |
|
| Olituusa ddi nga tonvuddeeko n’ondeka ne mmira ku malusu? |
|
| 20 |
|
| Nyonoonye; kiki kye nakukola, ggwe omukuumi w’abantu? Lwaki onfudde nga akabonero ak’obulabe gy’oli, ne neefuukira omugugu? |
|
| 21 |
|
| Era lwaki tosonyiwa kwonoona kwange, n’oggyawo obutali butuukirivu bwange? Kubanga kaakano nzija kwebaka mu ntaana; era ojja kunnoonya ku makya naye naaba sikyaliwo.” |
|
|
|
|