|
| 1 |
|
| “Obulamu bw'omuntu ku nsi bwa kufaabiina. Bwakukuluusana ng'obw'akolera empeera. |
|
| 2 |
|
| Ng'omuddu eyeegomba okubeera mu kisiikirize, Era ng'oyo akolera empeera bw'asuubira empeera ye: |
|
| 3 |
|
| Bwe ntyo nange bwe nnaweebwa emyezi egitangasa, N'ebiseera eby'ekiro ebyanteekerwawo bya buyinike gyendi. |
|
| 4 |
|
| Bwe ngalamira ne nneebuuza nti: Bunaakya ddi? ng'ekiro tekigwako, Era nsula nkulungutana okukeesa obudde. |
|
| 5 |
|
| Omubiri gwange gujjudde envunyu n'obujama. Olususu lwange lufukuuka ne lufulumya amasira. |
|
| 6 |
|
| Ennaku zange zidduka okusinga n'ewuzi z'omutunzi w'olugoye ku kyalaani. Era ziggwaako nga tewali ssuubi. |
|
| 7 |
|
| Jjukira ng'obulamu bwange mukka, Amaaso gange tegakyaddayo kulaba birungi. |
|
| 8 |
|
| Eriiso erintunulako teririddayo kundabako. Amaaso galinnoonya, naye nga siriiwo. |
|
| 9 |
|
| Ekire nga bwe kiggwaawo ne kibula, Bw'atyo n'oyo akka emagombe tagenda kwambuka aveeyo. |
|
| 10 |
|
| Takomawo nate mu nnyumba ye, N'abantu be yabeeranga nabo bamwerabira. |
|
| 11 |
|
| Kyennaava nange siisirika, Kaanjogerere mu bubalagaze bw'omwoyo gwange; Nga nneemulugunya lw'obuyinike obundi ku mwoyo. |
|
| 12 |
|
| Ndi nnyanja, oba kikulejje eky'omu nnyanja, N'okussaako n'onzisaako abankuuma? |
|
| 13 |
|
| Bwe njogera nti Ekitanda kyange kinansanyusa, N'obuliri bwange bunerabize okwemulugunya kwange; |
|
| 14 |
|
| Kale n'olyoka ontiisa n'ebirooto, N'onkanga n'okwolesebwa: |
|
| 15 |
|
| Emmeeme yange neyeegomba okutugibwa, Nfe okusinga okuba amagumba gano. |
|
| 16 |
|
| Ntamiddwa obulamu bwange; siribeerawo ennaku zonna. Ndeka; kubanga obulamu bwange mukka bukka. |
|
| 17 |
|
| Omuntu kye kiki, ggwe okumukuza, Era ggwe okumussaako omwoyo gwo? |
|
| 18 |
|
| N'okumujjira buli nkya, N'omugeza buli kaseera? |
|
| 19 |
|
| Olituusa wa obutanzigyako maaso, N'obutandekanga okumala okumira amalusu gange? |
|
| 20 |
|
| Oba nga nnyonoonye, nkukola ki ggwe, ggwe alabirira abantu? Kiki ekyakunteesaawo okuba eky'okunyigirizakwo, Lwaki nfuuse omugugu gy'oli? |
|
| 21 |
|
| Era kiki ekikulobera okusonyiwa okusobya kwange n'okuggyawo obutali butuukirivu bwange? Kubanga kaakano ngenda kufa ngalamire mu nfuufu, Naawe bw'olinnoonya, ndiba siikyaliwo.” |
|
|
|
|