|
| 1 |
|
| Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti |
|
| 2 |
|
| Olituusa wa okwogera ebyo? Era ebigambo eby'omu kamwa ko birituusa wa okuba ng'empewo ey'amaanyi? |
|
| 3 |
|
| Katonda anyoola omusango? Oba Omuyinza w'ebintu byonna anyoola ensonga? |
|
| 4 |
|
| Abaana bo oba nga baamwanoona, Ye n'abagabula mu mukono gw'okusobya kwabwe: |
|
| 5 |
|
| Bw'onokkiriza okunoonyeza ddala Katonda, Ne weegayirira Omuyinza w'ebintu byonna; |
|
| 6 |
|
| Singa obadde mulongoofu era wa mazima; Teyandiremye nno okukuzuukukira, N'awa omukisa ekifo omubeera obutuukirivu bwo. |
|
| 7 |
|
| Okusooka kwo newakubadde nga kwali kutono, Naye enkomerero yo ey'oluvannyuma yandyeyongedde nnyo. |
|
| 8 |
|
| Kubanga buuza ab'emirembe egyasooka, nkwegayiridde, Okenneenye ebyo bajjajjaabwe bye baanoonyeza ddala: |
|
| 9 |
|
| (Kubanga tuli ba jjo, so tetuliiko kye tumanyi, Kubanga ennaku zaffe ze tumala ku nsi kisiikirize:) |
|
| 10 |
|
| Bo tebalikuyigiriza ne bakubuulira, Ne boogera ebigambo ebiva mu mutima gwabwe? |
|
| 11 |
|
| Ekitoogo kiyinza okukula awatali bitosi? Olulago luyinza okumera awatali mazzi? |
|
| 12 |
|
| Nga lukyali lubisi nga terunnatemebwa, Luwotoka okusooka omuddo omulala gwonna. |
|
| 13 |
|
| Bwe gatyo bwe gabeera amakubo ga bonna abeerabira Katonda; N'essuubi ly'oyo atatya Katonda binaabulanga: |
|
| 14 |
|
| Obwesige bwe bunaakutukanga, N'ekyo kye yeesiga ngoye za nnabbubi. |
|
| 15 |
|
| Aneesigamanga ku nnyumba ye, naye teeyimirirenga: Anaaginywererangako, naye teegumenga. |
|
| 16 |
|
| Ayerera mu maaso g'enjuba, N'amalagala ge galanda okubuna olusuku lwe. |
|
| 17 |
|
| Emmizi gye gikwata ku kifunvu, Alaba ekifo eky'amayinja. |
|
| 18 |
|
| Bw'anaazikirizibwanga okuva mu kifo kye, Awo kinaamwegaananga nga kyogera nti Sikulabangako. |
|
| 19 |
|
| Laba, eryo lye ssanyu ery'ekkubo lye, N'abalala baliroka okuva mu ttaka. |
|
| 20 |
|
| Laba, Katonda taasuulenga muntu eyatuukirira. So taawanirirenga abo abakola obubi. |
|
| 21 |
|
| Bw'alimala alijjuza akamwa ko enseko, N’emimwa gyo okwogerera waggulu. |
|
| 22 |
|
| Abakukyawa balyambala ensonyi; N’eweema ey’ababi teribaawo nate. |
|
|
|
|