|
| 1 |
|
| Awo Birudaadi Omusukusi n’addamu n’agamba nti, |
|
| 2 |
|
| “Onookoma ddi okwogera ebintu bino? Era ebigambo bino by’oyogera n’akamwa ko binaakoma ddi okuba ng’empewo ey’amaanyi? |
|
| 3 |
|
| Katonda akyusakyusa mu nsala ye? Oba oyo Ayinzabyonna akyusakyusa amazima? |
|
| 4 |
|
| Abaana bo bwe baayonoona eri Mukama, n’abawaayo eri empeera y’ekibi kyabwe. |
|
| 5 |
|
| Kyokka bw’onoonoonya Katonda, ne weegayirira oyo Ayinzabyonna, |
|
| 6 |
|
| bw’onooba omulongoofu era ow’amazima, ddala ddala anaakuddiramu n’akuzzaayo mu kifo kyo ekituufu. |
|
| 7 |
|
| Wadde ng’entandikwa yo yali ntono, embeera yo ey’enkomerero ejja kuba nnungi ddala. |
|
| 8 |
|
| Buuza ku mirembe egy’edda, era onoonyereze ku bakitaabwe bye baayiga; |
|
| 9 |
|
| kubanga ffe twazaalibwa jjuuzi era tetulina kye tumanyi, era ne nnaku ze twakamala ku nsi ziri ng’ekisiikirize. |
|
| 10 |
|
| Tebaakulage bakumanyise era bakutegeeze ebigambo bye mitima gyabwe oba by’okutegeera kwabwe? |
|
| 11 |
|
| Ebitoogo biyinza okumera awatali bitosi? |
|
| 12 |
|
| Biba bikyakula nga tebinnasalibwa, bikala mangu okusinga omuddo. |
|
| 13 |
|
| Bw’etyo enkomerero bw’ebeera ey’abo bonna abeerabira Katonda, essuubi ly’abatatya Katonda bwe libula. |
|
| 14 |
|
| Ebyo bye yeesiga byatika mangu, ebyo bye yeesiga, nnyumba ya nnabbubi! |
|
| 15 |
|
| Yeesigama wuzi za nnabbubi ne zikutuka azeekwatako nnyo naye ne zitanywera. |
|
| 16 |
|
| Ali ng’ekimera ekifukirire obulungi ekiri mu musana, nga kyanjadde amatabi gaakyo mu nnimiro; |
|
| 17 |
|
| emirandira gyakyo nga gyezingiridde, okwetooloola entuumu y’amayinja, nga ginoonya ekifo mu mayinja. |
|
| 18 |
|
| Naye bwe bakiggya mu kifo kyakyo, ekifo ekyo kikyegaana ne kigamba nti, Sikulabangako. |
|
| 19 |
|
| Mazima ddala essanyu lyakyo liggwaawo, ebirime ebirala ne bikula okuva mu ttaka. |
|
| 20 |
|
| Mazima ddala Katonda talekerera muntu ataliiko musango, era tanyweza mukono gw’abakola ebibi. |
|
| 21 |
|
| Ajja kuddamu ajjuze akamwa ko enseko, n’emimwa gyo amaloboozi ag’essanyu. |
|
| 22 |
|
| Abalabe bo balijjula obuswavu, era n’ennyumba z’abakozi b’ebibi zirimalibwawo.” |
|
|
|
|