|
| 1 |
|
| Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti |
|
| 2 |
|
| Mazima mmanyi nga bwe kiri bwe kityo: Naye omuntu ayinza atya okuba n'obutuukirivu eri Katonda? |
|
| 3 |
|
| Bw'aba nga ayagadde okuwakana naye Tayinza kumuddamu kigambo na kimu mu lukumi. |
|
| 4 |
|
| Omutima gwe gwa magezi, era amaanyi ge mangi:. Ani eyali yeekakanyazizza eri ye n'alaba omukisa? |
|
| 5 |
|
| Ajjulula ensozi ne zitamanya, Bw'azivuunisa obusungu bwe. |
|
| 6 |
|
| Anyeenya ensi okuva mu kifo kyayo, Empagi zaayo ne zikankana. |
|
| 7 |
|
| Alagira enjuba n'etevaayo; Era ateekako akabonero ku mmunyeenye. |
|
| 8 |
|
| Abamba eggulu yekka, Era alinnyirira amayengo ag'ennyanja. |
|
| 9 |
|
| Akola Nabaliyo, Entungalugoye, ne Kakaaga, N'ebisenge eby'obukiika obwa ddyo. |
|
| 10 |
|
| Akola ebikulu ebitanoonyezeka; Weewaawo, eby'ekitalo ebitabalika. |
|
| 11 |
|
| Laba, ampitako, ne ssimulaba: Era yeeyongerayo mu maaso, naye ne ssimutegeera. |
|
| 12 |
|
| Laba, akwata omuyiggo, ani ayinza okumuziyiza? Ani anaamugamba nti Okola ki? |
|
| 13 |
|
| Katonda taggyengawo busungu bwe; Ababeezi ba Lakabu bakutama wansi we. |
|
| 14 |
|
| Nze sirisinga nnyo obutamuddamu, Ne nneerobaza ebigambo byange mpakane naye? |
|
| 15 |
|
| Gwe sandizeemu newakubadde nga ndi mutuukirivu; Nandyegayidde omulabe wange. |
|
| 16 |
|
| Singa nkoowodde naye ng'ajitabye; Era naye sandikkirizza ng'awulidde eddoboozi lyange. |
|
| 17 |
|
| Kubanga ammenya ne kibuyaga, Era ayongera ebiwundu byange okunnanga obwereere. |
|
| 18 |
|
| Taŋŋanyenga kussa mukka, Naye anjijuza obubalagaze. |
|
| 19 |
|
| Bwe twogera ku maanyi ag'omuyinza, laba, nga waali! Bwe twogera ku kusala omusango, ani ananteekerawo ekiseera? |
|
| 20 |
|
| Newakubadde nga ndi mutuukirivu, akamwa kange nze ke kanansalira omusango okunsinga: Newakubadde nga natuukirira, kanantegeeza okuba omukyamu. |
|
| 21 |
|
| Nze ndi muntu eyatuukirira; seerowooza nzekka; Nnyooma obulamu bwange. |
|
| 22 |
|
| Bwonna bwe bumu; kyenva njogera nti Azikiriza oyo eyatuukirira n'omubi. |
|
| 23 |
|
| Ekibonyoobonyo bwe kitta amangu ago, Alikudaalira okusalirwa omusango okw'abataliiko kabi. |
|
| 24 |
|
| Ensi eweereddwayo mu mukono gw'omubi: Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo; Oba nga si ye, kale ye ani? |
|
| 25 |
|
| Ennaku zange nno ziwulukuka mangu okusinga omubaka: Zidduka, teziriiko bulungi bwe ziraba. |
|
| 26 |
|
| Ziyise ng'amaato agatambula embiro Ng'empungu ekka ku muyiggo. |
|
| 27 |
|
| Bwe njogera nti Nneerabira okwemulugunya kwange, Naasanyusa amaaso gange aganakuwadde ne ŋŋumya omwoyo: |
|
| 28 |
|
| Awo nga ntidde obuyinike bwange bwonna, Mmanyi nga tolimpita ataliiko musango. |
|
| 29 |
|
| Omusango gulinsinga; Kale kiki ekinteganyisa obwereere? |
|
| 30 |
|
| Bwe nnaaba amazzi ag'omuzira, Engalo zange newakubadde nga nzitukuza ntya; |
|
| 31 |
|
| Era naye olinsuula mu lusalosalo, N'engoye zange nze zirintamwa. |
|
| 32 |
|
| Kubanga ye si muntu nga nze bwe ndi, nze okumuddamu, Ffe okulabagana okuwoza omusango. |
|
| 33 |
|
| Tewali mulamuzi ali wakati waffe, Eyandiyinzizza okuteeka omukono gwe ku ffe fembi. |
|
| 34 |
|
| Anziyeeko omuggo gwe, So entiisa ye ereme okunkanga: |
|
| 35 |
|
| Kale bwe nnandyogedde ne simutya: Kubanga si bwe ntyo bwe ndi nze nzekka. |
|
|
|
|