|
| 1 |
|
| Yobu n’alyoka addamu nti, |
|
| 2 |
|
| “Ddala nkimanyi nga kino kituufu. Naye omuntu asobola atya okuba omutuukirivu eri Katonda? |
|
| 3 |
|
| Wadde ng’omuntu yandyagadde okuwakana naye, tayinza kumuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo olukumi. |
|
| 4 |
|
| Amagezi ge ga nsusso, amaanyi ge mangi nnyo; ani eyali amuwakanyizza n’avaayo nga taliiko binuubule? |
|
| 5 |
|
| Asimbula ensozi ne zivaayo nga tezimanyiridde era n’azivuunika ng’asunguwadde. |
|
| 6 |
|
| Ensi aginyeenya n’eva mu kifo kyayo era n’akankanya empagi zaayo. |
|
| 7 |
|
| Ayogera eri enjuba ne teyaka, akugira n’alemesa ekitangaala ky’emmunyeenye okulabika. |
|
| 8 |
|
| Ye yekka abamba eggulu era n’atambulira ku mayengo g’ennyanja. |
|
| 9 |
|
| Ye mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga, n’ebibinja eby’emunyeenye eby’obukiikaddyo. |
|
| 10 |
|
| Akola ebyewuunyo ebizibu okunnyonnyola, n’akola n’ebyamagero ebitabalika. |
|
| 11 |
|
| Bw’ayita we ndi sisobola kumulaba, bw’ampitako, sisobola kumutegeera. |
|
| 12 |
|
| Bw’aba alina ky’aggya ku muntu, ani ayinza okumuziyiza? Ani ayinza okumubuuza nti kiki ky’okola? |
|
| 13 |
|
| Katonda taziyiza busungu bwe; n’ebibinja bya Lakabu byakankanira wansi w’ebigere bye. |
|
| 14 |
|
| Kaakano nnyinza ntya okuwakana naye? Nnyinza ntya okufuna ebigambo mpakane naye? |
|
| 15 |
|
| Wadde nga siriiko musango, sisobola kubaako kye muddamu, mba nnyinza kwegayirira bwegayirizi oyo Omulamuzi wange ankwatirwe ekisa. |
|
| 16 |
|
| Ne bwe na ndimukoowodde n’ampitaba, sirowooza nti yandimpadde ekiseera n’ampuliriza. |
|
| 17 |
|
| Yandimenyeemenye mu muyaga nannyongerako ebiwundu awatali nsonga. |
|
| 18 |
|
| Teyandindese kuddamu mukka naye yandimmaliddewo ddala nga mbonaabona. |
|
| 19 |
|
| Bwe kiba nga kigambo kya maanyi bwanyi, ye wa maanyi. Era bwe kiba kya kusala musango, ani alimuyita? |
|
| 20 |
|
| Ne bwe sandibaddeko musango, akamwa kange kandigunsalidde. Ne bwe bandinnangiridde nti siriiko kyakunenyezebwa, kandirangiridde nti gunsinze. |
|
| 21 |
|
| “Wadde nga sirina kyakunenyezebwa, sikyefaako, obulamu bwange mbunyooma. |
|
| 22 |
|
| Byonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti, Azikiriza bonna abataliiko musango awamu n’abakozi b’ebibi. |
|
| 23 |
|
| Kawumpuli bw’aba asse mbagirawo, Mukama asekerera okubonaabona kw’abatalina musango. |
|
| 24 |
|
| Ensi yaweebwayo mu mukono gw’abakozi b’ebibi. Abikka ku maaso g’abagiramula. Bw’aba nga si Mukama, kale ani? |
|
| 25 |
|
| Kaakano ennaku zange zidduka okusinga omuddusi, zifuumuuka, tezirina kalungi ke ziraba. |
|
| 26 |
|
| Zifuumuuka ng’amaato ag’ebitoogo agadduka ennyo, ng’empungu eyanguyiriza okugenda eri omuyiggo. |
|
| 27 |
|
| Bwe ŋŋamba nti, Leka neerabire okusinda kwange, oba nti neerabire obunyiikaavu bwange, nsekemu, |
|
| 28 |
|
| ne neekokkola okubonaabona kwange, mmanyi nga Mukama tombale ng’ataliiko musango. |
|
| 29 |
|
| Omusango gunsinze, lwaki nteganira obwereere? |
|
| 30 |
|
| Ne bwe nandinaabye sabbuuni n’engalo zange ne nzitukuza, |
|
| 31 |
|
| era wandinsudde mu kinnya, n’engoye zange zennyini ne zinneetamwa. |
|
| 32 |
|
| Kubanga Mukama si muntu nga nze bwe ndi nti muddemu, era nti tusisinkane tuwozaŋŋanye mu mbuga z’amateeka. |
|
| 33 |
|
| Tewali mutabaganya ayinza kututeekako mukono gwe ffembi, |
|
| 34 |
|
| eyandizigyeko omuggo gwa Katonda entiisa ye n’erekeraawo okunzijira. |
|
| 35 |
|
| Olwo nno nandyogedde nga simutya; naye nga bwe kiri kaakano, sisobola.” |
|
|
|
|