×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 1

1
Wa mukisa oyo atakolera ku magezi ga babi oba okukwata ekkubo ly'aboonoonyi, wadde okutuula awamu n'abanyoomi.
2
Wabula amateeka ga Katonda ge gamusanyusa, era g'alowoozaako emisana n'ekiro.
3
Afaanaanyirizibwa n'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo z'amazzi, ogubala ebibala mu kiseera kyabyo, era ogutawotoka makoola. Mu buli ky'akola aba wa mukisa.
4
Naye ababi si bwe bali. Bafaanaanyirizibwa n'ebisusunku ebifuumuulibwa embuyaga.
5
Ababi abo kyebaliva balemwa okugumira olunaku olw'okusalirwako omusango, wadde okwetaba awamu n'abatuukirivu.
6
Kubanga Mukama aluŋŋamya abatuukirivu. Naye ababi balizikirira.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes