×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 1

1
Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw'ababi, Newakubadde okuyimirira mu kkubo ly'abo abalina ebibi, Newakubadde okutuula mu ntebe z'abanyooma.
2
Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa, Era mu mateeka ge mw'alowooleza emisana n'ekiro.
3
Naye alifaanana ng'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo ez'amazzi, Ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaagwo. Amalagala gaagwo tegawotoka, Na buli ky'akola, akiweerwako omukisa.
4
Naye ababi si bwe bali, Bali ng'ebisusunku, empewo bye zifuumuula.
5
Ababi kyebaliva balema okugumira omusango, Newakubadde abalina ebibi okubeera mu kkuŋŋaaniro ly'abatuukirivu.
6
Kubanga Mukama amanyi ekkubo ly'abatuukirivu, Naye ekkubo ly'ababi liribula.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes