|
| 1 |
|
| Kiki ekikuyimirizisizza ewala, ai Mukama? Kiki ekikwekwesezza mu biro eby'ennaku? |
|
| 2 |
|
| Mu malala ag'omubi omwavu ayigganyizibwa nnyo: Bakwatibwe mu nkwe ze baateesa. |
|
| 3 |
|
| Kubanga omubi yeenyumiriza olw'okwegomba kw'omutima gwe, N'omukodo yeegaana, era anyooma Mukama. |
|
| 4 |
|
| Omubi mu malala ag'amaaso ge ayogera nti Talivunaana. Ebirowoozo bye byonna nti Tewali Katonda. |
|
| 5 |
|
| Amakubo ge makakanyavu ennaku zonna; Emisango gyo giri waggulu nnyo gy'atayinza kugirabira: Abalabe be bonna abasooza. |
|
| 6 |
|
| Ayogera mu mutima gwe nti Sirisagaasagana: Okutuusa emirembe gyonna siriraba nnaku. |
|
| 7 |
|
| Akamwa ke kajjudde okukolima n'okulimba n'okujooga: Wansi w'olulimi lwe waliwo ettima n'obutali butuukirivu: |
|
| 8 |
|
| Atuula mu mateegero ag'ebyalo: Mu bwekweko atta abatalina misango: Amaaso ge agatunuuliza ku munafu mu kyama. |
|
| 9 |
|
| Yeekweka mu tteegero ng'empologoma mu mpuku yaayo: Yeekisa okukwata omwavu: Akwatira ddala omwavu, ng'amuwalulira mu kyambika kye. |
|
| 10 |
|
| Akutama, akootakoota, Abasajja be ab'amaanyi ne basuula abanafu. |
|
| 11 |
|
| Ayogera mu mutima gwe nti Katonda yeerabidde: Akweka amaaso ge; tagenda kukiraba. |
|
| 12 |
|
| Golokoka, ai Mukama; ai Katonda oyimuse omukono gwo: Teweerabira mwavu. |
|
| 13 |
|
| Lwaki omubi okunyoomanga Katonda, N'okwogera mu mutima gwe nti Tolivunaana? |
|
| 14 |
|
| Walaba; kubanga otunuulira ettima n'obukyayi, okussaako omukono gwo: Omunafu yeewaayo gy'oli; Wabanga omubeezi w'abo abataliiko kitaabwe. |
|
| 15 |
|
| Menya omukono gw'omubi; Omuntu omubi onoonyeze ddala obubi bwe okutuusa obutabusangamu. |
|
| 16 |
|
| Mukama ye kabaka emirembe n'emirembe: Amawanga gazikiridde mu nsi ye. |
|
| 17 |
|
| Mukama, wawulira abawombeefu kye bayagala: Onooteekateekanga omutima gwabwe, onoowulizanga okutu kwo: |
|
| 18 |
|
| Okusalira omusango abataliiko kitaabwe n'abajoogebwa. Omuntu, ye w'omu nsi, aleke okubeera n'entiisa. |
|
|
|
|