×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 10

1
Lwaki ayi Mukama, oyimirira ewala? Lwaki weekwese mu biseera eby'obuyinike?
2
Ababi beekulumbaza ne bayigganya abaavu, ne babakwasa mu mitego gye bateze.
3
Omubi yeewaana olw'okwegomba kwe okubi, ow'omululu yeegaana Mukama era amunyooma.
4
Omubi yeekulumbaza n'agamba nti: “Mukama talinvunaana.” Alowooza nti Katonda taliiwo.
5
Buli ky'akola kimugendera bulungi. Ennamula yo emusukkiridde, tagitegeera. Abalabe be abanyooma.
6
Agamba mu mutima gwe nti: “Sirisagaasagana. Siribonaabona emirembe gyonna.”
7
By'ayogera bijjudde okukolima, n'obulimba era n'obukambwe. Ayanguyira okwogera eby'ettima n'eby'enkwe.
8
Yeekweka n'atuula ng'ateeze ku byalo, n'attira mu bunyomero abantu abatalina musango. Aliimisa alabe abateeyinza.
9
Yeekweka n'ateega ng'empologoma mu mpuku yaayo. Akwata omwavu n'amutwala ng'amuwalulira mu kitimba kye.
10
Akutama n'akootakoota ku ttaka, n'avumbagira abanafu n'amaanyi ge gonna,
11
n'agamba mu mutima gwe nti: “Katonda yeerabidde, yeebisse ku maaso, tagenda kukiraba.”
12
Ayi Mukama Katonda, jjukira abanaku, obayambe.
13
Lwaki omubi anyooma Katonda, n'agamba mu mutima gwe nti: “Tajja kunvunaana”?
14
Naye ggwe olaba; otunuulira ettima n'obukyayi, nga weetegese okuyamba. Ateesobola yeeteeka mu mikono gyo, bulijjo bamulekwa ggwe obayamba.
15
Omubi era omwonoonyi mumale amaanyi, omalirewo ddala ebibi bye.
16
Mukama ye Kabaka emirembe gyonna. Ab'amawanga agatamusinza ba kuzikirira mu nsi ye.
17
Ayi Mukama, owulira abanaku bye bakusaba, ogumya emitima gyabwe.
18
Onoowulirizanga bamulekwa n'abajoonyesebwa, olyoke obasalire omusango basinge, abantu obuntu balemenga kubatiisatiisa.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes