|
| 1 |
|
| Lwaki otwekwese, Ayi Mukama? Lwaki otwekwese mu biseera eby’emitawaana? |
|
| 2 |
|
| Omubi, mu malala ge, ayigganya abanafu; muleke agwe mu nkwe ezo z’asaze. |
|
| 3 |
|
| Kubanga omubi yeewaana ng’anyumya ku bibi ebiri mu mutima gwe, agabula aboomululu n’avuma Mukama. |
|
| 4 |
|
| Omubi mu malala ge tanoonya Katonda. |
|
| 5 |
|
| Buli ky’akola kimugendera bulungi. Amateeka go tagafaako, era n’abalabe be abanyooma. |
|
| 6 |
|
| Ayogera mu mutima gwe nti, “Sikangibwa, nzija kusanyuka emirembe gyonna.” |
|
| 7 |
|
| Mu kamwa ke mujjudde okukolima n’obulimba awamu n’okutiisatiisa; ebigambo bye bya mutawaana era bibi. |
|
| 8 |
|
| Yeekukuma mu byalo okutemula abantu abataliiko musango. Yeekweka ng’aliimisa b’anatta. |
|
| 9 |
|
| Asooba mu kyama ng’empologoma, ng’alindirira okuzinduukiriza abateesobola. Abakwasa n’abatwalira mu kitimba kye. |
|
| 10 |
|
| B’abonyaabonya bagwa wansi ne babetentebwa ng’amaanyi g’omubi gabasukkiridde. |
|
| 11 |
|
| Ayogera mu mutima gwe nti, “Katonda yeerabidde, amaaso ge agakwese, era takyaddayo kubiraba.” |
|
| 12 |
|
| Golokoka, Ayi Mukama, ozikirize omubi, Ayi Katonda; abanaku tobeerabiranga. |
|
| 13 |
|
| Omuntu omubi ayinza atya okukunyooma, Ayi Katonda, n’agamba mu mutima gwe nti “Sigenda kwennyonnyolako?” |
|
| 14 |
|
| Naye ggwe, Ayi Katonda, ennaku zaabwe n’okubonaabona kwabwe obiraba era ojja kubikolako. Ateesobola yeewaayo mu mikono gyo, kubanga gwe mubeezi w’abatalina bakitaabwe. |
|
| 15 |
|
| Malawo amaanyi g’omwonoonyi, muyite abyogere ebyo ebibadde bitajja kuzuulwa. |
|
| 16 |
|
| Mukama ye Kabaka emirembe n’emirembe. Amawanga galizikirizibwa mu nsi ye. |
|
| 17 |
|
| Mukama awulira okwetaaga kw’ababonyaabonyezebwa, ogumye emitima gyabwe; otege okutu kwo obaanukule. |
|
| 18 |
|
| Olwanirira abataliiko bakitaabwe n’abajoogebwa; omuntu obuntu ow’oku nsi n’ataddayo kubatiisa. |
|
|
|
|