×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 10

1
Kiki ekikuyimirizisizza ewala, ayi Mukama? Kiki ekikwekwesezza mu biro eby'ennaku?
2
Ababi mu malala gaabwe bayigganya abaavu, Leka bakwatibwe bo bennyini mu mitego gye bateze.
3
Kubanga omubi yeenyumiriza olw'okwegomba kw'omutima gwe, N'ow'omululu yeegaana Mukama era amunyooma.
4
Omubi mu malala ge tanoonya Mukama, Alowooza nti, “Tewali Katonda.”
5
Buli ky'akola kimugendera bulungi. Okusala kwo okw'emisango kuli waggulu nnyo takutegeera. Abalabe be bonna abanyooma.
6
Agamba mu mutima gwe nti, “Sirisagaasagana. Siriraba nnaku emirembe gyonna”
7
Akamwa ke kajjudde okukolima, okulimba n'okujooga. Ayanguwa okwogera eby'ettima n'ebitali bya butuukirivu.
8
Yeekweka n'atuula ng'ateeze mu byalo, Eyo gy'attira abatalina misango. Aliimisa alabe abateeyinza.
9
Yeekweka n'ateega ng'empologoma mu mpuku yaayo. Yeekisa okukwata omwavu, N'amukwatira ddala omwavu, n'amuwalurira mu kitimba kye.
10
Akutama, n'akootakoota ku ttaka, N'avumbagira abanafu n'amaanyi ge gonna.
11
Agamba mu mutima gwe nti, “Katonda yeerabidde, Yeebise ku maaso, tagenda kukiraba.”
12
Yimuka, ayi Mukama, ayi Katonda, Teweerabira mwavu.
13
Lwaki omubi okunyoomanga Katonda, N'agamba mu mutima gwe nti, “Tajja kunvunaana?”
14
Naye ggwe olaba; otunuulira ettima n'obukyayi, weetegese okuyamba. Ateesobola yeewaayo gy'oli, Bulijjo bamulekwa ggwe obayamba.
15
Malamu omubi amaanyi, Omalirewo ddala ebibi bye.
16
Mukama ye kabaka emirembe n'emirembe. Amawanga agatamusinza gakuzikirizibwa mu nsi ye.
17
Ayi Mukama, wawulira abawombeefu bye bakusaba, onyweze omutima gwabwe, era obawulirize.
18
Onoolamulanga abataliiko kitaabwe n'abajoogebwa mu bwenkanya. Abantu obuntu balemenga kubatiisatiisanga.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes