×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 100

1
Mmwe ab'omu nsi zonna muyimbire Mukama.
2
Muweereze Mukama n'essanyu, mujje mu maaso ge nga muyimba.
3
Mumanye nga Mukama ye Katonda, ye yatutonda, era tuli babe. Tuli bantu be era ndiga ez'omu ddundiro lye.
4
Muyingire mu miryango gy'ennyumba ye nga mumwebaza, ne mu mpya ze nga mumutendereza. Mumwebaze era mumutendereze,
5
kubanga Mukama mulungi, ekisa kye kya lubeerera, obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna. 107:1; 118:1; 136:1; Yer 33:11
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes