EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Muleetere Mukama eddoboozi ery'essanyu, mmwe ensi zonna! |
| 2 |
| Muweereze Mukama n'essanyu! Mujje mu maaso ge n'okuyimba! |
| 3 |
| Mumanye nga Mukama ye Katonda: Oyo ye yatutonda, naffe tuli babe; Tuli bantu be, era endiga ez'omu ddundiro lye. |
| 4 |
| Muyingire mu miryango gye n'okwebaza, Ne mu mpya ze n'okutendereza. Mumwebaze, mukuze erinnya lye. |
| 5 |
| Kubanga Mukama mulungi; okusaasira kwe kwa lubeerera; N'obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/100.mp3
150
100