Luganda Bible
|
| 1 |
| Naayimbanga ku kusaasira ne ku musango: Ggwe, ai Mukama, gwe nnaayimbiranga okutendereza. |
| 2 |
| Naatambuliranga n'amagezi mu kkubo ettuukirivu: Woowe, olijja gye ndi ddi? Naatambuliranga mu nnyumba yange n'omutima ogutuukiridde. |
| 3 |
| Siiteekenga kintu kyonna ekitasaana mu maaso gange: Nkyawa omulimu gw'abo abakyama; Tegwegattenga nange: |
| 4 |
| Omutima ogutawulira gulindekera ddala: Sirimanya kintu kyonna kibi. |
| 5 |
| Awaayiririza munne mu kyama, oyo n'azikirizanga: Alina amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala siimugumiikirizenga. |
| 6 |
| Amaaso gange ganaatunuuliranga abeesigwa ab'omu nsi, batuulenga wamu nange: Atambulira mu kkubo ettuukirivu ye anampeerezanga. |
| 7 |
| Akola eby'obulimba talituula mu nnyumba yange: Ayogera ebitali bya mazima talinywera mu maaso gange. |
| 8 |
| Buli nkya naazikirizanga ababi bonna ab'omu nsi; Mmalewo bonna abakola ebitali bya butuukirivu baggweewo mu kibuga kya Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/101.mp3
150
101