Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ka nnyimbe ku bwesigwa n'amazima, nnyimbire ggwe, ayi Mukama. |
| 2 |
| Nnaagobereranga empisa ennungi. Kale olijja ddi gye ndi! Nnaabeeranga wa mutima mulongoofu mu nnyumba yange. |
| 3 |
| Seesemberezenga kintu na kimu ekitasaana, nkyawa ebikolwa by'abeggya ku Katonda, siibyetabengamu. |
| 4 |
| Abakumpanya nnaabeewalanga, siikolaganenga na babi. |
| 5 |
| Nja kweggyangako awaayiriza munne mu kyama, eyeepanka era eyeekulumbaza siimugumiikirizenga. |
| 6 |
| Abeesigwa mu nsi be nnaasiimanga okubeera nange, abagoberera empisa ennungi be banampeerezanga. |
| 7 |
| Ow'enkwe taabeerenga mu nnyumba yange, n'omulimba taabeerenga nange. |
| 8 |
| Buli olukya nnaazikirizanga ababi mu nsi, mmalirewo ddala abakola ebyambyone mu kibuga kya Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/101.mp3
150
101